Obwakabaka bwa Buganda nga buli wamu ne police mu Kampala némiriraano saako amagye butandise okutuuza enkiiko zÉbyokwerinda, n’Okubaga ebiragiro ebigenda okugobererwa abantu ba Kabaka abaneetaba mu misinde gyÁmazalibwaage age 69.
Emisinde gino egisuubirwa okwetabwamu abantu abasukka mu mitwalo 11, era nga gyakubaawo nga 7 April, 2024 mu Lubiri lwa Beene e Mengo, nébitundu bya Buganda ne Uganda námawanga gÉbunaayira.
Emisinde gino gyakutambulira ku mulamwa ogugamba nti Abasajja tubeere basaale mu kulwanyisa Mukenenya nga tutaasa Omwaana Omuwala.
Mu nsisinkano ebadde mu lubiri e Mengo, Omwogezi wa police mu Kampala némiriraano Patrick Onyango ategeezezza nti emisinde gyÁmazaalibwa ga Beene gimanyiddwa nnyo nga emisinde Mugatta bantu, naalabula bannabyaabufuzi abatekateeka okugikozesa nga akadaala kÉbyobufuzi bajolonge ekigendererwa kyagyo, nti babiveeko ebyo.

Minister wÁbavubuka Ebyémizannyo nÉbitone mu Owek Ssalongo Robert Sserwanga akakasizza abantu ba Beene nti ensonga zÉbyokwerinda eri abantu ba Kabaka zakutwaalibwa nga nkulu fdala.
Okweetaba mu misinde gino abantu ba Kabaka baakugula emijoozi ku shillings 20000.
Emsinde gyÁmazaalibwa gÉmpalabwa giwagiddwa Airtel Uganda, UNAIDS,CBS FM, BBS Terefayina, I&M Bank, Uganda Aids Commission nabavujjirizi abalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis