Omulangira Edward ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, Nnalinnya Agnes Nabaloga n’Omulangira David Kintu Wasajja, n’Omulangira Crispin Junju Kiweewa.
Omulangira atuuse mu Bulange ku ssaawa nnya ezokumakya, nga 20 March,2024.
Prince Edward awerekeddwako omubaka wa Bungereza mu Uganda Kate Airey n’abakungu abalala.
Nnaalinnya Agnes Nabaloga yeyetisse obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka.
Ekitongole kya Duke of Edinburgh International awards kisse omukago n’Obwakabaka bwa Buganda mu nteekateeka y’okwongera okubangula abavubuka mu bintu ebyenjawulo.
Omukago guno mu kussibwaako omukono mu Bulange e Mengo, Obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa ssenkulu w’Ekitongole ekisiga nsimbi mu Bwakabaka ki BICUL Omuk. Roland Ssebuufu ng’ajuliddwa minister w’abavubuka eby’emizannyo n’ebitone Owek Robert Sserwanga Ssalongo, ssonga ku ludda lwa Bungereza olukulembeddwamu Omulangira Edward Duke of Edinburgh William Blick yaataddeko omukono, omuyimaawe abadde Aisha Wamala.
Omulangira Edward ye muggalanda wa Queen Elizabeth II ne Prince Phillip.
Prince Edward Duke of Edinburgh nga amannyage amajjuvu ye Edward Antony Richard Louis yazaalibwa nga 10 March,1964 mu lubiri lwe Buckingham.
Alina abaana basatu n’omukyala Sophie gweyawasa mu 1999.#