Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agguddewo olusirika lwÁbakulembeze mu Bwakabaka bwa Buganda, olugenda okumala ennaku bbiri nga bakuba tooci mu byebalina okukola okwongera okutumbula obuweereza.
Olusirika luyindira ku Ssettendekero wa Muteesa I Royal University e Mengo.
Katikkiro asabye abakulembeze ku mitendera egyenjawulo mu Bwakabaka bwa Buganda okunyweeza obuweereza , nga bagoberera emitendera gyonna egirina okugobererwa.
Katikkiro annyonyodde nti 10 egiyise Obwakabaka bubadde butambulira ku ntegeka ez’enkola ya projects, nga kati butunuulidde okudda ku nkola eya programs.
Agambye nti enjawulo eriwo nti project etunuulira ekintu kimu wabula program etunuulira ebintu bingi ebivaamu enteekateeka ey’omuggundu.
Abakulembeze basabiddwa okubeera ekyokulabirako eri abantu babakulembera, nÓkwettanira enkola zonna eziyamba mu kuggya abantu ba Kabaka mu bwavu, nga bayita mu buyiiya obwenjawulo.
Abawadde amagezi obutenyoomera mu buweereza bwa Ssaabasajja, naye bakole ebyo ebituusa Buganda mu kifo kyaayo.
Katikkiro asabye abakulembeze obutawaliira na bintu binene, wabula batandike nébitonotono ebiriwo, oluvannyuma bigeggye.
Mungeri yeemu Katikkiro asabye abakulembeze ba Ssaabasajja okubeera mu bantu , okulondoola emirimu gyábantu ba Kabaka nÓkutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu yafeesi, ate n’okuzikuuma nga zinyirira era nga ziweesa Obwakabaka ekitiibwa.
Omumyuuka asooka owa Katikkiro Past District Guvernor Owek Robert Wagwa Nsibirwa asabye abakulembeze okunnyonnyola abantu enteekateeka za Ssaabasajja ezenjawulo, okubawa ku magezi ku ngeri zÓkulwanyisa Obwavu néntekateeka endala.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: MK Musa