Bank ya I&M ezizza buggya Omukago gwayo n’Obwakabaka bwa Buganda n’ekigendererwa oky’okutuusa obuwereeza ku bantu mu Buganda ne Uganda
Emisinde gy’amazaalibwa g’Omutanda ag’emyaka 69 gyakubeerawo nga 7 April,2024 mu Lubiri e Mengo nga gigendereddwamu okulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya.
Mu kuzza Omukago obuggya Obwakabaka bukiikiriddwa Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owekitiibwa Rotarian Robert Waggwa Nsibirwa, ate yo Bank ya I&M ekiikiriddwa akulira emirimu mu Bank eno Robin Bairstow.
Owekitiibwa Robert Waggwa Nsibirwa asinzidde ku mukolo guno mu Bulange e Mengo nagamba nti enkolagana zonna ezituukibwako wakati w’Obwakabaka n’ebitongole ebyenjawulo zigendererwamu okukulaakulanya Buganda.
Bank ya I&M ye Bank entongole ewagidde emisinde gy’amazaalibwa g’Omutanda egy’omwaka guno 2024.
Owekitiibwa Robert Waggwa Nsibirwa asabye abantu mu Buganda okujjumbira okugula obujoozi bw’emisinde gy’amazaalibwa obutundibwa emitwalo 20,000/=.
Ssenkulu wa Majestic Brands Omukungu Remmy Kisaakye yeyamye bakunyweeza enkolagana etuukiddwako ne Bank ya I&M okukyuusa embeera z’abantu mu Buganda .
Akulira emirimu mu I&M Bank Robin Bairstow yebazizza obwakabaka olw’okufaayo ku nkulaakulana ya banna Uganda, akakasizza nti bakuwagira Buganda mu ntekateeka zaayo.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius