Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde entekateeka y’Okutereka Omutaka Omubuze Eng Daniel Bbosa abadde Lwomwa w’ekika ky’Endiga,.
Wakuterekebwa ku Butakka bw’ekika e Mbale Mpigi Mawokota ku Sunday nga 3 March, 2024.
Okusinziira ku minister w’Amawulire, Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke, wagenda kubaawo okusaba okw’okweebaza Katonda olw’Ebibala byawadde Eng Daniel Bbosa,omuli nebirungi byaakoledde ekika n’Obwakabaka nga okusaba kuno kwakubeera ku kanisa ya Namirembe Christian Fellow church ku ssaawa 4, ku lwomukaaga nga 02 March,2024.
Oluvannyuma lw’okusaba omubiri gwa Eng.Bbosa gwakutwalibwa mu maka ge e Lungujja, abantu bagukubeko eriiso evvanyuma, olwo enkeera ku Sunday gutwaalibwe ku butaka e Mbale gyagenda okuterekebwa.#