Olusirika lwÁbakulembeze mu Bwakabaka bwa Buganda baweereddwa amagezi okunnyikiza federo yébikolwa , ng'omu ku kaweefube wÓkutuusa enkulaakulana mu bantu ba Kabaka. Bwabadde aggalawo olusirika luno ku ssettendekero wa Muteesa I...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti obunafu mu mikolo gy’okwanjula obusinga, buva ku bazadde abeesuulirayo ogwannaggamba ku nsonga ezeetaaga okusalawo kwabwe. Kamalabyonna agambye nti oluusi abazadde basussa okuba...
Minisiter w’Abavubuka, eby’emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Sserwanga Ssaalongo, agambye nti enteekateeka zino zaakutandika n’ekyeggulo eky’okusonda ensimbi nga 12 April,2024 mu Hotel Africana mu Kampala. Owek. Sserwanga agambye nti ekyeggulo kino...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agguddewo olusirika lwÁbakulembeze mu Bwakabaka bwa Buganda, olugenda okumala ennaku bbiri nga bakuba tooci mu byebalina okukola okwongera okutumbula obuweereza. Olusirika luyindira ku Ssettendekero...
Abantu abenjawulo betabye ku kyeggulo ekitegekeddwa ku Skyz Hotel e Nagguru, okusoonderako ssente ez`okusimba ekibira kya Kabaka okwetoolola amasaza ga Buganda gonna. Ekyeggulo kino kitegekeddwa Obwakabaka bwa Buganda nebannywanyi babwo...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abayisiraamu okukozesa ekisiibo kino basimbe emiti ,okulwaanyisa enkyukakyuuka mu mbeera y'Obudde evuddeko ebbugumu okweyongera. Abadde yeetabye ku mukolo Obwakabaka kwebusiibululidde abayisiraamu mu Bulange...
Omulangira Edward ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, Nnalinnya Agnes Nabaloga n'Omulangira David Kintu Wasajja, n'Omulangira Crispin Junju Kiweewa. Omulangira atuuse mu Bulange ku ssaawa nnya ezokumakya, nga 20...
Obwakabaka bwa Buganda nga buli wamu ne police mu Kampala némiriraano saako amagye butandise okutuuza enkiiko zÉbyokwerinda, n’Okubaga ebiragiro ebigenda okugobererwa abantu ba Kabaka abaneetaba mu misinde gyÁmazalibwaage age 69....
Abamegganyi 60 abeetaba mu Program Entanda ya Buganda 2023 ku CBS FM bonna baweereddwa ebirabo byabwe. Omukolo gw'okubakwasa ebirabo guyindidde mu luggya lwa Bulange e Mengo. Ebirabo ebibaweereddwa kuliko...
Bank ya I&M ezizza buggya Omukago gwayo n’Obwakabaka bwa Buganda n'ekigendererwa oky'okutuusa obuwereeza ku bantu mu Buganda ne Uganda Emisinde gy'amazaalibwa g'Omutanda ag'emyaka 69 gyakubeerawo nga 7 April,2024 mu Lubiri...