Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abavubuka okweyambisa emyaka gy’obuvubuka nga bakola ebikulaakukanya Obwakabaka omuli okukulemberamu omulimu gw’Okutaasa Namulondo.
Abadde ayogerako eri abayizi abavudde ku Makerere University abakiise mu Mbuga y’Obwakabaka Enkulu e Bulange Mengo.
Katikkiro agambye nti okukolerera Obuvubuka kabonero akalaga okwetegekera Obulamu bw’Obukadde.
Katikkiro mu ngeri yeemu ajjukizza abavubuka okwongera amaanyi mu bitwala Obuganda mu maaso naddala nga benyigira mu bifo by’obukulembeze, wabula n’ategeeza nti waliwo obwetaavu bwokutendeka abakulembeze abatuufu.
Lubega Nsamba Vicent nga ye mukulembeze w’abayizi omuggya ku Makerere University, agambye nti wakukunga abayizi e Makerere okujjumbira emisinde gy’amazaalibwa g’Empalabwa, nga balwaana okumalawo Mukenenya.
Bano baguze emijoozi gy’emisinde gyamazaalibwa ga kabaka gya mitwalo 800,000/=
Bisakiddwa: Kato Denis