Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Parliament nti bweba eyisa amateeka etteeke nnyo essira ku mateeka agagenderera okutereeza ebyobulamu, nti kubanga byankizo nnyo mu nkulakulana y’e ggwanga era nti bisaanye okutwalibwa nga nsonga nkulu.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategezeeza nti wakyaliwo okusoomozebwa mubbyobulamu mu Uganda, abantu bangi tebasobola kufuna bujjanjabi bumala wasaanye okubaawo ekikolebwa okubitereeza.
Owomumbuga asinzidde ku Mbuga enkulu mu Bulange e Mengo bwadde asisinkanye Sipiika wa Parliament Nalongo Annete Anita Among, omumyukawe Thomas Tayebwa n’ababaka, bazze okugula emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa g’O Mutanda.
Baaguze emijoozi gya bukadde bwa shs 50,000,000/=.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategezeezza nti Uganda bweba yakukulaakulana essira lirina okussibwa ku by’obulamu mu bitundu by’eggwanga byonna.
Sipiika wa Parliament Annette Anita Among yeyanzizza Ssabasajja olwa Kawefube gwataddewo okyusa embeera z’abantu omuli n’ebyobulamu.
Sipiika Anita Among wamu no Mumyukawe Thomas Tayeebwa saako n’ababaka baleetedde Ssabasajja ebirabo.
Ababaka ba Parliament abava mu Buganda mu Kabondo ka Buganda Caucus nga bakulembeddwamu Ssentebe wabwe era Omubaka wa Butambala Muhamed Muwanga Kivumbi baguze emijoozi gya bukadde 10,500,000/=.
Mu ngeri yeemu ababaka ba NRM abava mu Buganda nabo baguze emijoozi gyabukadde butaano okuwagira emisinde
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius