Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abakulembeze ku mitendera egyenjawulo okwewala okulwaanagana, kuba kumalawo essuubi mu bakulembeze bénkya.
Abadde asisinkanye abakulembeze ku mitendera egyenjawulo mu byobufuzi mu Bulange e Mengo abazze okuwagira entekateeka ya ssabasajja eyÓkulwanyisa Mukenenya nga bayita mu kugula emijoozi gyÁmazaalibwa ga Kabaka.
Katikkiro asabye abakulembeze obutateeka busungu mu biruubirirwa byÓbukulembeze, nÓkwewala okwogera ennyo.
Katikkiro asabye abakulembeze okumanya enkwaata yénsonga ezenjawulo mu kiseera nga omuyaga gwébyobufuzi gweyongedde , baleme kugwa mu nsobi ezaaliwo mu kusooka.
Omubaka akiikirira Nyendo Mukungwe era commissioner wa parliament Owek Mathias Mpuuga Nsamba asabye abakulembeze mu Bwakabaka okukomya okutyoboola nÓkuvvoola Obwakabaka, wabula babukwasizeeko okutuukiriza ebiruubirirwa byabwo.
Mu ngeri yeemu Owek Mpuuga yebazizza Ssaabasajja Kabaka olwÁmaanyi amasukkulumu gaatadde mu kulwanyisa Mukenenya, neyeeyama obutatuula buli nga waliwo obwetaavu ku nsonga zÓbwakabaka zonna, era nga mu kuwagira emisinde gya Beene aguze emijoozi gya bukadde 5.
Omubaka akiikirira Busiro East mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Medard Lubega Sseggona Akalyamaggwa, yeebazizza nnyo Nyinimu olwÓkulumirirwa abantube nga ayita mu ntekateeka zonna, naasaba abakulembeze mu Buganda okutuukiriza Obuvunaanyizibwa obwabakwaasibwa, era naye aguze emijoozi gya bukadde bwa shs 5.
Omubaka akiikirira Masaka City mu lukiiko lweggwanga olukulu Juliet Kakande , asabye abazadde okutuuza abaana abalenzi nÁbawala, era naalabula nti ssinga bano beddako nebafuuka ekyokulabirako Mukenenya wakuggwaawo.
Ebyo nga bikyali awo bazukulu ba Kakeeto e Bbaale mu Buddu eb’Ekika kyÓmutima omuyanja nga bakulembeddwamu Katikkiro we Kika Luberenga Yowan Maria Bagyabayira baguze emijoozi gya kakadde ka shs 1.2 , ate ekika kyÁkasimba kiguze emijoozi gya mitwalo 70.
Mungeri yeemu abasikawutu mu ggwanga nga bakulembeddwamu Owek prof Ssalongo Badru Kateregga baguze emijoozi gya bukadde bwa Uganda bubiri, era nebawera okwongera okujjumbira buli ntekateeka yÓbwakabaka.
Ekibiina kya Kabaka Mwennyango nga kikulembeddwamu Ssentebe waakyo Mbogooli Isma baguze emijoozi gya mitwalo 40,Kampuni entunzi ya mmotoka eya Ayyan Motors Ltd eguze emijoozi gya mitwalo 50 nga bakulembeddwamu Haji Kalema Abdu.
Bwabadde abatikkula emijoozi gino mu bimuli bya Bulange e Mengo, minister w’Ebyemizannyo, Abavubuka n’ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga yeebazizza bonna abajjumbidde entekateeka eno, naasaba abatanavayo kugula mijoozi okwanguwako.
Bisakiddwa: Nakato Janefer ne Kato Denis