Aba Stabex Uganda beegasse ku Bwakabaka bwa Buganda mu kaweefube w’okulwanyisa siriimu, bawaddeyo obukadde bwa shs 30 mu ntegeka z’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ag’omulundi ogwe 69.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abakwasizza emijoozi egy’okuddukiramu, nayozaayoza aba Stabex olw’okusalawo obulungi okwegatta ku Bwakabaka.
Ku lwa Stabex, Justus Kiptoo ategeezeza nti newankubadde baalwawo okwegatta obutereevu mu mirimu gy’Obwakabaka, naye bagiwagira, nti naye kayi bavuddeyo, era bagenda kwongera okuziwagira ne mu nteekateeka endala omuli emipiira gy’amasaza, egy’ebika, n’ebirala.#