Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti obunafu mu mikolo gy’okwanjula obusinga, buva ku bazadde abeesuulirayo ogwannaggamba ku nsonga ezeetaaga okusalawo kwabwe.
Kamalabyonna agambye nti oluusi abazadde basussa okuba abakopi nebatuuka n’okusaba abalenzi abaanjulwa mu maka gaabwe nti basooke okubazimbira n’okubalongooseza ennyumba, kyagambye nti mu mbeera bweti omuzadde abeera talina wayinza kusinziira okukugira ebikyamu ebikolebwa mu mikolo gino nti kubanga abeeranga eyaweebwa ekyoja mumiro.
Bwabadde aggala olunaku olusooka olw’olusirika lw’abakulembeze mu Buganda, agambye nti essira kati lirina kussibwa ku bazadde beetereeze ku nsonga eno, olwo ekitiibwa ky’omukolo gw’okwanjula kikomewo.
Mukuuma Ddamula ategeezezza abakiise nti ebbanga lyonna ensonga y’okwonoona emikolo gy’okwanjula ebadde essibwa ku balungamya baagyo,wabula baakizudde nti abazadde b’abawala bebakanaaluzaala!
“Bukopi nnabaki obwo, obukutuusa okusaba omulenzi akuzimbire, Bwanatandika okumansamansa ssente onooba olina womugaanira?!”
Mu ngeri yeemu Kamalabyonna asabye ebika bitandikewo kaweefube w’okubangawo emirimu omuva ensimbi nga project ezigasa ab’ekika bennyini n’abalala.
Asabye ba jjajja abataka abakulu b’ebika okufuna Nnnamutaayiika ono okukakasa nga waakiri batandika ku nteekateeka eno.
Akalaatidde ministry y’ebyobulambuzi okufuna okuyiiya engeri gy’eyinza okuyingiza ssente ng’ekozesa eby’obulambuzi ebyaffe ebyobutonde era ebiriwo.
Olusirika luno lwakumala ennaku bbiri, luyindira ku Muteesa I Royal University e Kakeeka Mmengo nga lukomekkerezebwa nkya nga 26 March,2024.
Lutambulira ku mulamwa: Okuseeseetula enteekateeka z’Obwakabaka okuva mu Polojekiti okudda mu pulogulaamu nga tunnyikiza Federo ey’ebikolwa.
Abakiise bakubaganyizza ebirowoozo ku ngeri nnyingi ezinaayamba okusitula abantu ba Ssaabasajja omuli engeri ennungamu enaayitwamu okufuna ensimbi, okutumbula eby’obulamu, okutumbula olulimi oluganda n’ensonga endala nnyingi.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.