Abasirikale ba poliisi babiri ababadde ku mirimu gyabwe ku kyalo Ssebboggo mu gombolola ye Ssekanyonyi mu district ye Mityana, okubadde Cop Alfred Okech ne Police Constable Kigongo Moses basanjagiddwa abagambibwa okuba ba bakijambiya.
Omu ku baserikale bano Alfred Okech atemeddwa ejjambiya ku mutwe, abakyaamu olumusse nebamugyako emmundu gyabadde akutte nebasasira muserikale munne Kigongo Moses Amasasi naye agamuttiddewo , oluvannyuma nebadduka.
Abantu 15 bakwaatiddwa okuyambako poliisi mu kunoonyereza ku ttemu lino, era ebikwekweeto ebyenjawulo bitandise okuyinda mu bitundu ebyom
Omwogezi wa poliisi mu bendobendo lya Wamala Racheal Kawala agambye abakyaamu bano babadde nékigendererwa ekyokunyaga ensimbi ku bantu abawerako nebalemesebwa abasirikale, era agambye tewali kussa mukono okutuusa nga bakwatiddwa.