Abantu 19 abagambibwa okubeera abakabinja ka ADF nti era bebaatega bbomu mu Kampala omwaka oguwedde bazziddwayo mu nkomyo e Luzira, omuwaabi wa government talabiseeko.
Abasibe bano babadde baleeteddwa ku kkooti ya Buganda Road okumanya lwebanaasindikibwa mu kkooti enkulu okutandika okwewozaako.
Omulamuzi wa kkooti Asuman Muhummuza alagidde nebazzibwayo mu nkomyo okutuusa 26th omwezi guno.
Oludda oluwaabi lulumiriza abakwate, nti wakati wa 2017 ne 2021 nga basinziira mu bitundu bye Kampala, Mpigi ne Wakiso baatega bbomu ezatirimbula abantu abasoba mu musanvu n’okulumya abalala bangi.
Abavunaanibwa mu musamgo guno ogw’okutega bbomu kuliko abakazi bataano, abasigadde basajja.
Kuliko abakozi ba mobile money Yusuf Muwonge, Hamza Ssemaganda,Robert Danze ne Shamirah Naddamba.
Abalala ye Ismail Kiyemba akola gwa kwokya byuma, Muniru Bogere wa Boda Boda, Eron Nanfuka muyizi, Sharon Nakitende mutunzi wa kyalani ne Annet Nakato Nakibirango mukyala wawaka n’abalala.
Munnamateeka wabwe Geoffrey Turyamusiima, ayagala kooti egobe emisango egivunaanibwa abantu be, nti kubanga oludda oluwaabi luluddewo okuleeta obujulizi, so ng’abantu be bamaze ebbanga ddene ku alimanda ekirinnyirira eddembe lyabwe.
Agambye nti abantu be babuzaayo ennaku 13 zokka okuweza emyezi omukaaga, omusibe zaatekeddwa obutasukka ngaali ku alimanda, nga bwegirambikiddwa mu mateeka.
Grace Sonko yoomu ku boluganda lw’abasibe ababadde bazze mu kooti, ng’ayagala muwala we Sharon Nakitende ayimbulwe,nti kubanga baamukwata alina olubuto, era yazaala abalongo ngaali mu nkomyo gyatasobola kubalabirira bulungi.
Endala yabwatukira mu bus ya Swift yali eva Kampala ng’eyolekera Ishaka, waliwo neyabwatukira ku Digida pork joint e Kisaasi ku njegoyego za Kampala.