
Bya Ddungu Davis
Ministry y’eby’obulamu erangiridde nti yakutandika okugemesa abaana ekirwadde kya covid 19 okuva ku myaka 5-17, mu lusoma olujja.
Ministry y’eby’obulamu egamba nti abaana obukadde 16 bebasuubirwa okugemebwa mu kawefube ono, era eddagala kika kya Pfizer lyerigenda okukozesebwa mu kugema abaana.
Government egamba nti erina eddagala eriwera obukadde 5, 4000,000, esuubirayo doozi endala obukadde 5,800,000 olwo etandike okugema abaana.
Kigambibwa nti abaana emitwalo 14 bebaakwatibwa ekirwadde kya Covid 19 nga bali ku masomero
.
Bagenda kugemebwa n’eddagala ekika kya Pfizer.
Minister w’eby’obulamu, Dr. Jane Ruth Acheng Ocero, agambye nti government yakufulumya ennambika enaagobererwa mu kugema kuno.
Mu mbeera yeemu ministry yeebyobulamu eyimirizza mbagirawo, ebyokusaba abantu ebbaluwa ezikakasa nti baakebeddwa Covid 19 oluvanyuma lwennaku 3 ze saawa 72 ng’omuntu tannaba kusala nsalo okujja oba okufuluma Uganda.
Dr. Daniel Kyabayinze, akulira eby’okugemesa mu ministry yebyobulamu, agamba nti abantu abatambula okufuluma oba okuyingira eggwanga ekibeetagisa ze bbaluwa eziraga nti baagemebwa covid 19.
Kati tekikyali kyabuwaze omuntu okwambala mask mu bifo by’olukale, ebiri mu byangaala oba wabweru w’ebizimbe.
Wabula abantu abakolera munda mu bizimbe ebirimu abantu abangi basaanye basigale nga bambala mask.
Ministry yebyobulamu egamba nti Uganda kaakano erimu abalwadde ba Covid 19, babiri bokka mu malwaliro, ng’omu ali mu ddwaliro e Mulago noomulala mu ddwaliro lya St. Mary’s hospital Lacor e Gulu, kyokka nti bombi ssibageme.
Ebiwandiiko biraga nti abantu 15,268,403 byebitundu 71% bebakafuna empiso ya Covid 19 esooka, ku bantu obukadde 22 obweteegibwa okugemebwa.
Abantu abalala 10,250,742 byebitundu 48% bebamazeeyo doozi zonna naabalala 59,542 bebakfuna ‘booster dose’.