Kooti enkulu eragidde Ssaabawaabi wa government okukola ennongoosereza mu mpaaba y’emisango egyali givunaanibwa omugenzi Muhammad Sseggiriinya eyali omubaka w’e Kawempe North, kusigaleko kusigaleko Omubaka Allan Ssewannyana n’abalala.
Kooti ebawadde obutasukka nga 01 April,2025, okuba ng’ennongoosereza ezo ziwedde okukolebwa, ku fayiro y’emisango egy’obutujju, obutemu n’emirala.
Sseggiiriinya yali avunaanibwa n’omubaka wa Makindye West Allan Ssewannyana, saako Jackson Kanyike, John Mugerwa, Bull Wamala, ne Mike Sserwadda, nga kigambibwa nti benyigira mu ttemu eryali e Masaka n’emiriraano wakati wa March ne June 2021, abantu abasoba mu 30 nebattibwa n’ebijambiya.
Omulamuzi Alice Komuhangi Khauka ategeezezza nti olw’okuba nga Sseggiriinya yafa nga 09 January, 2025, abeera alina okuggyibwa ku fayiro y’emisango mbagirawo.
Omulamuzi alagidde omuwaabi wa government Richard Birivumbuka okola ku nsonga eno mu bwangu obutasukka 1st April,2025.
Omusango gwakuddamu okuwulirwa nga 07 April,2025.
Bisakiddwa: Betty Zziwa