Obubaka obuwanjagira banna Uganda okwetaba mu kalulu ka 2026 ak’emirembe bwebumu ku businze okwefuga okubuulira ne mukwogera kwabakungu abetabye mu mikolo gyókulamaga kw’okukuza olunaku lw’abajulizi e Namugongo omwaka guno 2025.
Uganda omwaka ogujja 2026, yakuteekateeka akalulu okuva ku ku byalo okutuuka ku ntebe yóbwa president, wabula ngókutya okuliwo nti kaandibaamu emivuyo ejisusse, kwekuwanjagira bekikwatako okukyewala.
Ku bifo byombiriri ekyabakulisitaayo n’abakatuliki, ensonga eno ebadde ku mwanjo ddala mu boogezi abenjawulo, okubadde bannabyabufuzi ne bannadiini.
Bwabadde ayogerako eri abalamazi abakuηaanidde ku kijjukizo ky’abakulisitaayo e Namugongo, president wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni,asabye bannadiini okukwasizaako government mu kuteekawo emirembe mu ggwanga, nókuluηamya bannansi mu nkulakulana ez’enjawulo.

President Museveni mu ngeri yeemu avumiridde abantu abalemereddwa okukulembeza ekiruubirirwa eky’okwagala ensi yaabwe, nebadda mu kubunyisa obubaka bwagambye nti bugenderera kwawula mu bantu mu kifo ky’okutumbula obumu n’okwagalana.
Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The most Rev Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu, asinzidde mu kusaba kuno naavumirira ekibba ttaka ly’ekkanisa, abakozesa ebiragalalagala ebiviriddeko okutabuka kw’emitwe, era asabye government eteekewo ne yinsuwa yeebyobulamu okutaasa abateesobola.
Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda owomusanvu era eyawummula Rt Rev Dr. Henry Luke Orombi, nga yaabadde omubuulizi weenjiri owoolunaku, alabudde bannabyabufuzi abasusse okuyisa obubi abalonzi, n’okukola ebitaabatumwa mu yaafesi, okwegulumiza, era asabye abantu okuyiga okusonyiwagana.
Minister weebyobulamu Dr. Jane Ruth Acengh Ocero nga yaabadde ssentebe w’olukiiko olukulu olwategese emikolo gy’abajulizi e Namugongo ku lwabava mu Northern Uganda, asabye president ayongere obukuumi neemirembe mu bendobendo ly’obukiika kkono bwa Uganda.
Abalamazi okuva mu Northern Uganda Cluster, abateeseteese okulamaga kw’omwaka guno 2025, balangiridde nti bagenda kuzimba n’okumaliriza Bbugwe okwetoolola ettaka ly’ekifo kya Namugongo lyonna, okuguliramu amataala ga solar, aganatekebwa mu miti n’ekifo kyonna.
Bisakiddwa: Ddungu Davis