Eggye ly’e ggwanga erya UPDF lifulumizza ebikwata ku bantu ababiri abagambibwa okuba nti bebateze bbomu esse abantu 2 okumpi n’ekiggwa ky’abajulizi e Munyonyo.
Okusinzira ku UPDF abakoze obulumbaganyi buno bakabinja ka ADF akazze katigomya ebitundu bye ggwanga ebyenjawulo, omuli bwakolebwa mu District ye Kasese ku ssomero lya Mpondwe Lubiriha Secondary School,n’obwakolebwa ku police ya CPS mu Kampala ne ku luguddo lwa Parliamentary Avenue obwaleka abantu 6 nga bafu n’okulumya abalala.
Akolanga omwogezi wa UPDF Col.Chris Magezi asinzidde mu lukuηaana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe ky’amagye e Mbuya, n’agamba nti aba 2 abafudde bakabinja ka ADF, era kubaddeko Aisha Katushabe oluusi abadde yeyita Byaruhanga ate olulala neyeyita Sumaiya nga wamyaka nga 20 egyobukulu, ate omugoba wa boda boda tanamanyika mannya ,wabula boda kwebabadde yawandiikibwa mu mannya ga Musana Yusufu.
Col Chris Magezi ategezezza nti Aisha Katushabe yakwatibwako dda abakuuma ddembe mu 2023 nakunyizibwa, era aliiko Amawulire geyabawa omwali n’obulumbaganyi bwebaali bateekateeka okukola.
agambye nti Aisha omwami amanyiddwako lya Muzafalu eyakwatibwa gyebuvuddeko ku bigambibwa nti yali ateekateeka okuteeka bbomu mu bakungubazi abaali mu kuziika eyali omumyuka wa Ssaabapolice ya Uganda Maj. Gen Paul Lokech.
Mungeri yeemu UPDF etegezezza nti Aisha, muwala wa Abdul Shakulu agambibwa okwetulisizaako bomu ku police ya CPS mu Kampala gyebuvuddeko omwafira abantu abaweerako.
Col Chris Magezi agambye nti okunonyereza ku bbomu eno kukyagenda mu maaso.