Police okuva e e Kawempe ne Matugga etandise okunoonyereza ku ttemu erikoleddwa ku bakuumi ababadde bakuuma ku Skyland jet car wash and parking e Kavule ku luguudo lwe Ssemuto mu Gombe Division,babiri battiddwa.
Abakuumi bano babadde ba kampuni y’obwannanyini eya Samurai protective services Limited.
Abattiddwa ye Fred Hardison myaka nga 30 ne munne ategeerekeseeko lya Bright wa myaka 25 afudde yakatuusibwa mu ddwaliro e Bombo gyabadde addusiddwa.
Kigambibwa nti abakuumi bano baalumbiddwa ababbi mu kiro nebabatta nga bakozesa ennyondo n’ebiso, olwo nebakuliita ne piki piki emu kyokka e mmundu bajireseewo.
Police ereese embwa yaayo ekonga olusi wabula tesobodde kuzuula batemu bano.
Manager wa parking eno Mutebi Henry agambye nti babadde bakola bulungi nga tebalina kutiisibwatiisibwa kwonnya, era nti abakuumi bano babadde bakolagana bulungi ne ba customer.
Abatuuze mu kitundu kino tutegezezza nti Obubbi bususse nyo nebasaba eby’okwerinda byongerwemu amaanyi.
Akulira eby’okwerinda mu Kavule-Mwereerwe B Salambisi yennyamidde olwa government okubaggyako police ye Jagala eyali ebakuuma nga kati ababbi begiriisa.
Police ye Matugga awamu neya Kawempe nga ekulembeddwamu Rpc Tumusime Gerald egamba nti batandise okuyigga Abantu abaakoze Ettemu lino.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe