Eggye lya Uganda erya UPDF eryasindikibwa mu Congo okulwanyisa akabinja k’abayeekera ba ADF mu bikwekweto ebyatuumwa Operation Shuja nga lirimu ne lya Democratic Republic of Congo, liriko abakyala 14 abagambibwa okubeera a bakabinja ka ADF berikutte.
Bakwatiddwa mu bitundu bya North Kivu Province mu Congo.
Abakwatiddwa mu kikweekweto kuliko ne munnansi wa Burundi agambibwa okuba nti yabadde mukyala wa Abu Waqas aduumira aba ADF.
Abu Waqas ne banne okusinzira ku UPDF kigambibwa nti bebeenyigira mu kutirimbula abayizi abasoba mu 40 ku ssomero lya Lhubiriha senior Secondary School mu district ye Kasese.
Mungeri yemu adduumira ekibinja kya UPDF Ekya Operation Shujaa Maj Gen Dick Olum ne munne owa Congo Maj Gen Kasongo Maloba batuuzizza ensisinkano eyenjawulo nebawa ebiragiro ebiggya eri abasirikale bebakulembera okwongera okuyigga aba ADF mu Congo.#