Ekitongole ekya Uganda Health Professions Assessment Board, (UHPAB), kitandise okugezesa abayizi abasoma obusawo naabo abasoma okukuguka mu kuyambako abasawo nga bakola emirimu gyabwe mu malwaliro, okuva enteekateeka y’okugatta ebitongole bweyayisibwa parliament omwaka ogwayita 2024.
Ekitongole kino kyatondebwawo oluvanyuma lwa government okusalawo okujjawo ekitongole ekyali kivunanyizibwa ku basawo abazaalisa nabajjanjabi, ekya Uganda Nurses and Midwives Examinations Board (UNMEB) nekya Allied Health Examinations Board, (UAHEB).
Helen Mukakarisa Kataratambi, ssenkulu w’ekitongole kino ekya Uganda Health Professions Assessment Board, (UHPAB) agambye nti ebibuuzo ebisookedde ddala byakutambula okutuusa nga 30 June,2025, nga byakutuulibwa mu tteeka eppya erya TVET Act 2025 eryateekebwako omukono gwa president nga 27 omwezi gwa Gatonya omwaka guno 2025.
Amatendekero agatuuzizza abayizi omugatte gali 229 nga 134 gabazaalina n’okujjanjaba sso nga 95 gasomesa bayambako mu byobujjanjabi.
Abayizi omugatte bali 78,512 nga kubano abatuula ebya Allied Health bali 21,924 naabasoma eby’obusawo n’okuzaalisa bali 56,588.
Mukakarisa Kataratambi agambye nti ekitongole kiriko abantu 3,933 bekisindise mu matendekero gano okukuuma ebibuuzo nga bayambibwa ekitongole ekya Uganda Police enaamaggye ga UPDF mu kubitambuza, nokubitereka okwewala okubbibwa.
Mukakarisa Kataratambi alabudde abayizi naabamatendekero okwewala ensobi ezimenya amateeka kuba ebibonerezo bikalubo nga bwebyalambikiddwa mu tteeka eribatwala naddala ku kukoppa nebirala.
Bisakiddwa: Ddungu Davis