• Latest
  • Trending
  • All

Entemaatema y’embalirira y’eggwanga 2026/2027 – ya Trillion 84  n’obuwumbi 391

April 24, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

May 15, 2026
Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

May 15, 2026
Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

May 15, 2026
Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

May 14, 2026
Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

May 14, 2026
Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

May 13, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

May 13, 2026
Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

May 13, 2026
President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

May 12, 2026
Yogaayoga Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 13 ng’okuuma Ddamula

Yogaayoga Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 13 ng’okuuma Ddamula

May 12, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Entemaatema y’embalirira y’eggwanga 2026/2027 – ya Trillion 84  n’obuwumbi 391

by Namubiru Juliet
April 24, 2026
in Amawulire
0 0
0
0
SHARES
38
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Parliament  Uganda eyisizza embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2026/2027 ya trillion 84  n’obuwumbi 391.

Embalirira y’eggwanga yeyongeddeko trillion 12 okuva trillion 72 n’obuwumbi 376 ey’omwaka guno ogugenda mu maaso eya 2025/2026 okutuuka ku trillion 84 n’obuwumbi 391.

Ku trillion zino 84 n’obuwumbi 391, government eteeseteese okukuηaanya omusolo gwa trillion 44 n’obuwumbi 277, Amafuta g’eggwanga mu nsawo eya petroleum fund governmet yakugyayo trillion 1 n’obuwumbi 442, so nga trillion ezisoba mu 36 egenda kuzeewola okuwanirira embalirira eno.

Trillion 45 n’obuwumbi 95 government egenda kuzikozesa okusasula amabanja okuli okusasula amagoba ku mabanja (Interests Payament) trillion 14 nobuwumbi 110, okusasula ku bank y’eggwanga enkulu obuwumbi 547 olw’ensimbi zeyawola government okusasula amabanja gaayo.

Trillion 13 n’obuwumbi 967 zigenda kusasula mabanja government gezze yeewola munda mu ggwanga, songa trillion 4  n’obuwumbi 181 zigenda kusasula ku mabanja agabanjibwa Uganda okuva ebweru weggwanga

Obuwumbi 361 zigenda mu nsawo ey’ebigwa bitalaze eya contingent fund, songa obuwumbi 317 zigenda kusasula bannansi ababanja government egulako ebintu ku bbanja.

Trillion 39 n’obuwumbi 295 zezokka governemnt zesigazaawo okuddukanya eggwanga ezimanyiddwanga discretionary resource, nga zino zezigabanyizibwa mu bitongole byayo okutambuza eggwanga okuli ezigenda okusasula emisaala gy’abakozi n’ebirala, okukola enguudo, okuzimba amalwaliro, okuteekawo enkulakulana n’ebirala

Eby’enjigiriza n’emizannyo

Mu ntemaateka y’embalirira eno, ebyenjigiriza n’emizannyo, ekikula kyabantu n’ebyobulamu  byebisinze okufuna omutemwa omunene nga bino bifunye trillion 13 n’obuwumbi 562 okuva ku trillion 11 nobuwumbi 484 byebyaafuna mu mwaka guno ogugenda mu maaso 2025/26.

Bino government ebyongeddemu trillion 2 n’obuwumbi 77 olw’emisaala gyabasomesa ba Arts, enteekateeka za AFCON n’ebirala, byetaddemu ensimbi mu kisaawe kyebyobulamu omuli okwongera ku ambulance n’okuzigulira amafuta.

Eby’okwerinda

Ebyokwerinda n’obukulembeze omuli Police, amaggye, amaka g’Obwapresident, ministry y’ensonga z’Obwa President, ebitongole okuli ESO, ISO nebirala bifunye trillion 10 n’obuwumbi 204,  bino government ebyongeddemu obuwumbi 299 okuva ku trillion 9 n’obuwumbi 905 byezaafuna mu mwaka guno 2025/2026.

Eby’entambula

Ebyentambula n’enguudo saako emirimu egigasiza awamu bannansi byongeddwamu trillion 2 n’obuwumbi 403, okuva ku trillion 6 n’obuwumbi 383 byezaafuna mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogugenda mu maaso 2025/2026, kati ensimbi zirinnye okutuuka ku trillion 8 n’obuwumbi 787 olw’enteekateeka z’okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka olw’omulembe olwa standard gauge railway, okutereeza oluguudo lwa meter gauage railway oluliwo saako okuzimba oluguudo mwasanjala olwa Kampala Jinja expressway

Eby’obulimi

Eby’obulimi n’okugatta omutindo ku birimibwa n’ebirundibwa ebimanyiddwanga Agro Industrialization biweereddwa trillion 2 n’obuwumbi 264 okuva ku trillion 1 n’obuwumbi 833 byezaafuna mu mwaka gw’ebyensimbi guno 2025/2026. Bino byongeddwamu obuwumbi 431.

Parliament

Parliament eyongeddwa obuwumbi 196 okuva ku trillion 1 n’obuwumbi 30 okutuuka ku trillion 1 nobuwumbi 226.

Eby’obugagga eby’ensibo

Okukulakulanya ebyobugagga ebyensimbi, amasanyalaze n’amafuta byongeddwa ensimbi trillion 1 n’obuwumbi 33 okuva ku trillion 1 n’obuwumbi 30 ezassibwa mu mwaka guno 2025/2026, eriinye ku trillion 2 nobuwumbi 68 mu 2026/2027.

Ettaka n’okukulaakulanya ebibuga

Ettaka ,Okukulakulanya ebibuga, n’amayumba bisaliddwako ensimbi obuwumbi 998  okuva ku trillion 1 n’obuwumbi 486, okudda ku buwumbi 488, nga kino kivudde ku projects okuli USMID nendala eziri wakati wa ministry eno ezokukulakulanya enguudo mu bibuga ne munisipaali okugwako.

Eby’obulambuzi

Eby’obulambuzi byongeddwamu ensimbi obuwumbi 143, okuva ku buwumbi 428 okutuuka ku buwumbi 571, so nga okukulakulanya amakolero nabyo byongeddwa ensimbi obuwumbi 751 okuva ku buwumbi 312 okutuuka ku trillion 1 n’obuwumbi 63.

Essiga eddamuzi

Essiga eddamuzi lyongeddwa ensimbi obuwumbi 48, okuva ku buwumbi 603 okutuuka ku buwumbi bwa shs 651.

Okulwanyisa obwavu mu bannansi

Mu mbalirira y’omwaka guno 2026/2027, government etaddemu trillion 2 n’obuwumbi 493 ezigenze mu projects ezitali zimu ezigendereddemu okulwanyisa obwavu mu bannansi.

Mulimu trillion 1 n’obuwumbi 84 ezigenze mu nteekateeka ya Parish development Model, Obuwumbi 180 zigenda mu project ya Export Guarantee scheme , Obuwumbi 75 zigenze mu Project y’abakyaala eya GROW.

Obuwumbi 451 zigenze mu kitongole kya government ki Uganda development Corporation ekivunaanyizibwa ku makolero ga government naago government gevujjirira.

Mulimu Obuwumbi 442 ezigenze mu bank y’eggwanga eya Uganda Development Bank, bannamakolero ne bamusiga nsimbi abalala bannauganda gyebasobola okwewola ku magoba amatonotono,  okusinziira ku alipoota ey’abanji evuddemu embalirira eno essomeddwa amyuka ssentebbe w’akakiiko, Lemigia Acia.

Obuwumbi 100 bugenze mu nteekateeka y’Emyooga, songa obuwumbi 58 bugenze mu project y’okukulakulanya abavubuka eri wansi w’amaka g’ObwaPresident , obuwumbi 48 bugenze mu Microfinance, songa obuwumbi 50 bugenze mu nteekateeka ya Agricultural credit facility nga zino ziwolebwa abalimi ku magoba amatonotono.

 

Alipoota y’abatono ey’embalirira y’eggwanga 2026/2027

Alipoota ey’ababaka abatono esomeddwa omubaka wa Kira municipality Ibrahim Ssemunju Nganda.

Mu mbalirira eno, mulimu trillion 2 n’obuwumbi 622 ezigenze mu nsawo etatunulwamu emanyiddwanga classified budget, Obuwumbi  260 government egenda kuzisasula eggwanga lya DR Congo okuliyirira ebyobugagga abanene mu government eri mu buyinza  byebabba mu ggwanga lya DRC mu biseera byolutalo olwali mu nsi eyo mu mwaka gwa 1997 okutuuka 2000.

Mulimu ensimbi  obuwumbi 305 ezigenda mu ddwaliro ery’omulembe e Lubowa, Obuwumbi 70 government egenda kubuwa ekitongole ki Presidential Initiative on Banana, Kampuni ya ROKO nayo government egenda kugiwa obuwumbi 32 nti okugiyambako okudda engulu n’ebintu ebirala.

Embalirira yeggwanga eno eyomwaka gwebyensimbi 2026/2027 yakussomwa oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga n’ababaka ba parliament okulayizibwa mu mwezi ogujja ogwa May, olwo etandiike okussibwa mu nkola ng’ennaku z’omwezi 1 July,2026.

Embalirira eno era egenda kuggulawo ekisanja kya government eky’omwaka gw’ebyensimbi 2026-2031.

Emisolo ku mafuta gyayongeddwako shillings 200 ku buli liita, emisolo ku butto, sukaali, omwenge, lime, cement, engoye enkadde oba emivumba nabyo byongeddwako omusolo

Okuwandiisa obwannanyini bwa Bodaboda mu mbalirira eno, nakwo omusolo gwayongeddwa okuva ku mitwalo 200,000 okutuuka ku mitwalo 500,000, songa n’abayimbi, bannakatemba nabalala abasanyusa abantu nabo batereddwako omusolo gwa bitundu 6%.

 

 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we
  • Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala
  • Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo
  • Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco
  • Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist