Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Amasiimye naatonera Ekelezia ya Mulaje Catholic Parish esangibwa e Baamunaanika mu Bulemeezi, Entebbe ezituulwako ez’omulembe .
Entebe zino zeetikkiddwa Omumyuka owokubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Wagwa Nsibirwa, nga buli ntebe ya kakadde ka shilling kalambs.
Bwana Mukulu w’ekigo Kya Mulaje Rev father Gerald Wamala yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’entebe ez’omulembe zaabawadde,era naawera nti Tebagenda kussa Mukono okutuusa nga Keleziya etuuse ku mutindo gw’omulembe Omutebi.
Bisakiddwa: Ssekajjijja Augustus










