Ekitongole kya Greater Kampala Metropolitan Area-GKMA, mu ofiisi ya president kyongedde district ye Wakiso Oluguudo Olulala oluva e Wakiso okusala Bukasa okugguka e Buloba, nga luwezaako Kilometers ezisoba mu 6.
Omuteesiteesi omukulu mu kitongole kino, Ademachu Monica alagidde ba engineer ba GKMA naba district, okukwatagana bunambiro okukola ku bipimo n’ebintu byonna ebyetagisa Oluguudo luno lukolebwe.
Ademachu abadde alambula oluguudo lwa Bukasa- Ssentema- Kakiri olukolebwa mu kiseera kino, okuyita mu nteekateeka ya GKMA ngali wamu nebitongole ebirala byona ebibadde mu kulondoola enguudo zonna eziri mu nteekateka ya Greater Kampala Metropolitan Area.
mu district nga Achilles Kiwanuka Ssalongo ajikwanaganya bwagamba.
Omumyuka wa akulira abakozi mu district, Godfrey Kiiza asinziide wano nategeeza nti enguudo zino bazeetaaga mu bwangu mu nteekateeka y’okukulaakulanya ebitundu.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe









