Eddwaliro erijjanjaba kookolo e Mulago erya Uganda Cancer Institute lisimbulizza obusomyo b’omulwadde wa kookolo asookedde ddala mu Uganda.

Stephen Sande y’abadde apooca n’obulwadde bwa kookolo w’omusaayi okumala ebbanga, okutuusa eddwaliro ly’e Mulago weryafunye obusobozi obukyusa obusomyo, era gweritandikiddeko okulongoosa nadda bulungi engulu era asiibuddwa.

Abaddukanya eddwaliro lino bagambye nti buno buwanguzi bw’amaanyi nnyo mu by’obujjanjabi bwa bannauganda ababadde batindigga eηηendo okugenda emitala wa Uganda okubatusaako obujjanjabi bw’okukyusa obusomyo.

Omukolo ogw’okusiibula Stephen Sande okuva mu ddwaliro lya Cancer Institute e Mulago, gwetabiddwako minister w’eby’obulamu Jane Ruth Aceng n’abakulira eby’obulamu ku mitendera egy’enjawulo, awamu n’abasawo.










