Olukiiko olwenjawulo olugenda okutegeka emikolo gy’amatikkira g’Empologoma ag’Omulundi ogwa 30 lutongozeddwa.
Abantu ba Kabaka basabiddwa okunyweza empagi zonna okutambulira Obwakabaka bwa Buganda.
Emikolo gy’amatikkira gigenda kubaawo nga 31.7.2023 ku lwokusooka mu Lubiri lwa Ssaabasajja Kabaka e Mengo.
Omulamwa gw’Amatikkira ga Beene ag’Omwaaka guno gugamba nti “Tuwagire Ebika byaffe tunyweze Namulondo”.
Ssentebe w’Olukiiko olutesiteesi lw’amatikkira ye minister ow’ensonga ez’enkizo mu Bwakabaka Owek David FK Mpanga, amyukibwa Owek David Kyewalabye Male, bakulungamizibwa omukubiriza w’Olukiiko lw’abataka Namwama Augustine Kizito Mutumba.
Ba memba ku lukiiko luno kuliko Owek Noah Kiyimba,Owek Haji Hamis Kakomo, Omuk Josephine Nantege, Kaggo Ahmed Magandaazi , Omuk Remmy Kisakye, Omuk Jeniffer Mirembe , Omuk Joseph Mugagga , n’abebyokwerinda abakulembeddwaamu Capt Eddie Ssempijja ne Capt Christopher Lutwama.
Bwabadde atongoza olukiiko luno mu Cabinet mu Bulange e Mengo, omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek. Hajji Dr. Twaha Kawaase Kigongo yeebazizza Beene olw’okusiima omulamwa gw’Okuwagira ebika, eranga ku bika Obwakabaka kwebutambulira.
Ssentebe w’Olukiiko oluteesiteesi Owek David FK Mpanga awadde obweeyamo nti waakuggusa omulimu ogumuweereddwa, naasaba bwebalondeddwa okukwatira awamu.
Bisakiddwa: Kato Denis