
Ttabamiruka w’abakyala mu bwakabaka bwa Buganda, essira liteekeddwa kukusitula omutindo gw’ebyobulamu mu maka gabwe.
Ttabamiruka w’Omwaka guno 2022 wakubaawo nga 13 May,2022 mu Lubiri lwa Beene e Mengo.
Omulamwa gugamba nti “Omukyala Omulamu gw’emusingi gw’enkulaakulana eyannama ddala.
Minister w’ekikula ky’abantu, ebyobulamu, eby’enjigiriza era nga y’avunaanyizibwa ku wofiisi ya Nnaabagereka Owek Dr.Prosperous Nankindu Kavuma, agambye nti omusomo guno gugendereddemu okujjukiza abakyala okwefaako okubeera abalamu, n’obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okukuuma ab’omumaka gabwe nga balamu.
Akinogaanyizza nti wadde obuvunaanyizibwa obwo buli ku bakyala, nti naye balina okusooka okwefaako okubeera abalamu, nga bayambibwako abaami.
Owek. Nankindu agamba nti ”Omukyala singa tabeera mulamu oba singa abeera mulwadde neyekuumira mu buliri nga tavaayo,ebintu bingi mu maka bigotaana”
Agambye nti abakyala bettanidde okukola ennyo okuli emirimu gy’ewaka n’emirimu omuva ensimbi, nti naye singa tebafiibwako kubeera nga balamu, bingi bizingama.
Akisinyizaako nti mu maaso eyo waliwo enteekateeka y’okutegekayo Ttabamiruka w’abaami okubajjukiza obuvunanyizibwa bwabwe, nti kubanga ebintu bingi ebizze munsi, ebyongedde okutwala ebiseera by’abasajja neberabira obuvunaanyizibwa bw’amaka.
”Amaka gwe musingi era y’entabiro y’obulamu obulungi”
Ttabamiruka ono era atunuulidde eby’obulamu n’endwadde ezikosa abaana abawala nga bakyali bavubuka, nezigenda nga zikula nezifuuka ez’obulabe nga bakuze mu myaka.
Ssentebe w’Olukiiko oluteesiteesi olwa ttabamiruka w’Abakyala ba Buganda Dr.Sarah Nkonge Muwonge, asabye abaami okukwasizaako abakyala mu kutumbula ebyobulamu ebyomuggundu, kiyambeko mu kusitula nébyenfuna.
”Omukyala ye Namuziga y’obuyiiya n’enkulakulana mu maka” -sarah Nkonge Muwonge
Muzaana Agness Kimbugwe atwaala ekitongole kyábakyala mu ssaza Kyadondo, agambye nti ku mulundi guno baakutunuulira nnyo engeri abasajja gyebayinza okukwatagana n’abakyala okwekebeza endwadde ezenjawulo nÓkubasomesa obuyonjo obwáwaka.
Dorothy Kasoma Naabafumbo wéssaza ly’eklezia ekkulu erya Kampala, yebazizza Beene olwokusiima abakyala naabawa ebifo ebyenkizo mu Bwakabakabwe, naasaba abakyala okuyayaanira okuba abaweereza abalungi wabweru ne mu maka mwebasibuka.