Okusaala Eid Adhuha ku muzigiti gwa Old Kampala kukulembeddwamu Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje.
Mufti akukkulumilidde president Yoweri Kaguta Museveni olw`obutagabanya kyenkanyi ebifo bya ba minister be ab’eddiini ez’enjawulo.
Mufti agamba nti abasiramu bakola ky’amaanyi okunoonyeza president Museven akalulu, naye ate beewunya nti buli lwatuuka okulonda ba Minister bo abawa omuwendo mutono.
Akuliira Olukiiko lwabakyala mu Uganda Muslim Supreme Council Hajjat Kenyange Sofia Saphinah, naye ategezeeza nti Omuwendo gwabasiramu abanoonyeza president Museven akalulu gwali mungi, bwatyo namusaba abalabemu mungeri eyenjawulo.
Minister wa Kampala era Omubaka wa Kampala Central Hajhat Minsa Kabanda, asinzidde wanno nawanjagira abasiramu okwongera okubeera obumu bwebaba bagala government ewuliire edoboozi lyabwe.
Omuwandiisi wa Uganda Muslim Supreme Council Hajji Abas Ssekyanzi, asaasidde abantu babwe abangi ababadde basasudde buli kimu okugenda okukola Hijjah, wabula ate Visa zabwe nezitafuluma.#












