Omuliro ogutanamanyika kweguvudde gukutte ekisulo kyÉssomero lya Ebenezer primary school mu district ye Kagadi, ebintu byÁbayizi bisanyeewo.
Omuliro guno gukutte ku ssaawa nga bbiri nekitundu ezeekiro kya leero nga 27 May,2026 nga kiteeberezebwa gutandikidde ku Gate eyingira ku ssomero.
Abamu ku babaddewo nga bino byonna bigwaawo bategeezezza nti essomero lino lizze lifuna ebisomoozo ebyenjawulo.
Kitegeerekese nti omuliro guno wegukwaatidde nga abayizi bali mu kusoma okwÁkawungeezi okwakazibwako Preps, era poliisi eyitiddwa bukubirire okuguzikiza yadde nga bingi ku bintu by’abayizi bisanyeewo.
Abaddukanya essomero lino bagaanye okwoogerako ne bannamawulire, eranga abamu ku bazadde batuuse okukina abaana baabwe babazze eka.
Bisakiddwa: Kato Denis











