Government ya Uganda egaddewo ensalo zaayo ne ginqayp eya Democratic Republic of Ugandaokutangira okusaasaana kw’ekirwadde kya Ebola okumala omwezi mulamba.
Kigambibwa nti ekirwadde kya Ebola kyongedde okulanda mu bannansi ba DRC, sso nga n’okwetegereza okubaddewo mu ngeri bannansi ba DRC gyebakuttemu ekirwadde kino, ekyali yakibogwe.
Omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyobulamu, Dr. Diana Kanziira Atwine, mukwogerako ne bannamawulire ku ssengejjero ly’amawulire ga government erya Uganda Media Center, (UMC), agambye nti basazeewo okuggala ensalo olw’engeri obulwadde gyebukuliramu mu ggwanga ly’okumulirwano era kino kyakukolerwawo mbagirawo.
Dr. Atwine agambye nti wadde baggaddewo ensalo, ebyamaguzi bikyakirizibwa okutambuzibwa, naabo abantu abajja okuyambako mu kulwanyisa Ebola, obuyambi obwemmere, abeebyokwerinda, nabaduukirira abali mu bwetaavu.
Agambye nti kyokka nebano bakusooka kulondoolwa nnyo abasawo abakugu mu kulwanyisa ekirwadde.
Dr. Atwine agambye nti bino byatukiddwako olukiiko olwatekebwawo okulwanyisa ekirwadde kya Ebola, olwa National Task Force on Ebola Response lubirizibwa omumyuka wa president, Rtd Maj. Jessica Alupo Eperu, oluvanyuma lw’okwetegereza entambula zabantu okuva mu mawanga g’ombiriri ku nsalo.
GOvernment eragidde ekitongole ekivunanyizibwa ku kukkiriza n’okuwa olukusa abantu abayingira n’okufuluma eggwanga ekya Immigration obutakiriza bantu kuva n’okugenda e Congo.
Dr. Atwine, agambye nti bino bizeewo nga tewaliwo mulwadde mulala yenna yazuliddwa mu Ebola mu Uganda okuva ku bbalaza ya ssabiiti eno nga 25 May,2026 nga naabo abakazuulibwa nabwo abasinga basawo.
Omuntu omu yekka yeyaakafa ekirwadde kino mu Uganda okuva lwebakirangirira nga 15 May,2026 sso nga abalwadde mu malwaliro abakyali mu kujjanjabwa bali 4 nga bbo abalala 2 bajjanjabiddwa nebawona.
Dr Atwine era agambye nti olukiiko lwakanyizza okwongera amaanyi mu kwekebejja abantu ekirwadde kino, okubawandiisa ebibakwatako gyebava ne gyebalaga, era abakirizibwa okuyingira okuva e Congo bateekebwe mu kalantiini okumala ennaku 21.
Kyokka bwatuuse ku nsonga yaamasomero agali ku nsalo za Uganda ne DRC, Dr Atwine, agambye nti ggo gaakusigala nga maggule wakati mu kugoberera obukwakulizo bwebiragiro byabasawo obutangira Ebola obwateekebwawo ministry yeebyobulamu obwatuumibwa Ebola Standard Operating Procedures (SOPs).
Dr. Atwine alagidde ba RDC ne ba RCC okwongera okuteekesa mu nkola ebiragiro byokulwanyisa obulwadde buno, era neemikutu gyamawulire jiragiddwa okuwaayo akadde ka ddakiika waakiri 30 buli lunaku okusomesa n’okumanyisa abantu ku ngeri y’okukyewala.
Agambye nti neebivvulu byonna ebikuηaanya abantu abangi biwereddwa mbagirawo okwetolola eggwanga.
Ebola bulwadde obuleetera omuntu okukola ekisusse, okulumizibwa mu kifuba, okutanaka, Embiro, okufuukuka kwemeeme, omusujja ogwolutentezi, amaaso okumyuukirira, okuyiwa ebituluttuttu ku lususu, n’okuyisa omusaayi.
Bisakiddwa: Ddungu Davis












