Jjaja wobusiramu Omulangira Dr.Kasimu Nakibinge Kakungulu asabye ababaka ba Parliament abavunanyizibwa okukola amateeka okufaayo okukola amateeka agayamba bannauganda bonna, nga tegalimu kyekubiira wadde ebyobufuzi, olwo eggwanga lijja kutambula bulungi.
Omulangira ababaka ba Parliament nabakulembeze bonna abasabye okujjukira nti ebyobufuzi n’okulonda byaggwa, kati balina okuweereza abantu nga gebatunuulidde langi ya za byabufuzi uonna.
Bino Omulangira Dr.Kasiimu Nakibinge abyogeredde mu maka ge e Kibuli gyagabulidde abaddu ba Allah,oluvanyuma lw’okusaala Swallah ya Edi Aduhah olwaleero nga 27 May,2026.
Mu ngeri yeemu Jjaja Mbuga ajjukiza abantu okwewala okwata mungalo nokusa ebiragiro byonna ebyawereddwa ministry ye byobulamu mu nkola, basobole obutasaasanya kirwadde kya Ebola.
Omulangira era yebazizza minister w’ebyejigiriza n’emizzanyo era mukyala w’omukulbeze we ggwanga Janet Kataaha Museveni ne ministry yonna olwe nteekateeka ennungi ezitereddwa mu masomero ezongedde etofaaali ku
Supreme Mufti wa Uganda Sheik Shaban Muhammed Galabuzi asinzidde mu musala Eid Aduhah enno, nasaba banyini masomero okubeera abekisa eri abazadde olwebeera ye byenfuna etali nnungi.
Omumyuka wa Katiikiiro asooka Prof.Dr Twaha Kawase Kigongo yasomye obubaka bwa Ssabasajja Kabaka mu kusaala Eid Aduhah e Kibuli.

Supreme Mufti era aggumbudde abagabira abasiramu Hijja ate nebefulula, agambye nti basaanye okweddako olwe mivuyo egiri mu ngabanya eyo, agambye nti mingi mu enteekateeka eno.

Akulembeddemu okusaala Swallati Eid Aduhah ku muziki Sheik Hamidu Tamusuza asabye abaddu ba Allah abalina obusobozi obutafirwa mukisa gwa kusala bisolo basobole okweyolera ku mpeera.
Minister omubeezi omuggya avunaanyizibwa ku nsonga z’amawanga amalala era amyuka ssentebe wa NRM mu Buganda Hajji Kyeyune Haruna Kasolo asabye bakulembeze banne abafunye omukisa okuwereza bakole n’obwesiimbu.#












