Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ayozayozessa abasiraamu okumalako obulungi omwezi omutukuvu ogwa Ramathan.
Omuteregga abebazizza olw’ebikolwa ebingi eby’ekisa ebikolebwa mu mwezi guno, naddala eby’okuyamba abanaku.
Sseggwanga Musota era abebazizza olw’okusabira eggwanga lisobole okuyita mu kusoomozebwa kw’ebyenfuna,eby’obulamu n’okulinnyirira eddembe ly’obuntu.
Ccuucu asabye abasiraamu okwongera okuwanjagira Allah ataase bannansi okuyita mu kugezesebwa okwenjawulo.
”Mweyongere okusaba Allah atutaase ku bantu ababi, tuyite fenna mu kugezesebwa kwetulimu,tusobole okutaasa emmaali yaffe n’ettaka lyaffe omuva kwabo abesibiridde okutunyaga”.
Empologoma ya Buganda eyagalizza abasiraamu okuyita obulungi mu Idd.El.Fitri.
Obubaka bw’Omutanda mu bujjuvu.