Somalia mu butongole ekkiriziddwa okwegatta ku mukago gw’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa ogwa East African community.
Kisaliddwawo mu nsisinkano y’abakulembeze b’amawanga gano, olwomulundi ogwa 23 okutudde mu kibuga Arusha akya Tanzania nga 25 November,2023.
Somalia okukkirizibwa okwegatta ku mukago guno, efuuse eggwanga ery’omunaana agakola omukago guno, eddiridde Democratic Republic of Congo eyegatta ku mukago guno mu 2022.
Somalia yasooka okusaba okwegatta ku mukago gwa East Africa mu mwaka 2012,wabula nekitasoboka, okutuusa ku ntandiikwa y’omwaka guno 2023, omukago gwa East Africa lwegwatandiika ku nteekateeka okwekeneenya ebisaanyizo byensi byayo.
Alipoota eyava mu kwekeneenya okwo, eyanjuddwa eri abakulembeze bamawanga gano aga East Africa mu nsisinkano etudde mu kibuga Arusha, bwebatyo nebakkiriza Somalia okwegatta ku mukago gwa East African Community okufuuka memba.
Omukago guno mu kiseera kino gukokebwa amawanga 8, okuli Uganda ,Kenya Tanzania ,Rwanda ,Burundi ,South Sudan , DR Congo ne somalia.
Amawanga ga East Africa okuli Uganda ,Burundi ne Kenya gazze gakolera wamu ne somalia mu by’okwerinda omuli okusindika amagye mu ggwanga eryo mu mukago gwa Amison okutebenkeza eggwanga eryo
, eryatabanguka mu mwaka 1990-1992 okuyita mu kulwanagana nobubinja bwabannalukalala obuwerako okuli aka Al Shabab..
Mu ngeri yeemu president wa South Sudan Salva Kiir alondeddwa nga ssentebe w’omukago gwa East African Community omuggya.#