Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu Uganda ekya Uganda Netball Federation, kitongoza enteekateeka, enaasobozesa ttiimu y’eggwanga eya She Cranes okukiikirira Uganda mu mpaka za Commonwealth Games omwaka guno.
Empaka zino zigenda kuyindira mu kibuga Birmingham ekya Bungereza.
President w’omuzannyo gw’okubaka, Babirye Kityo Sarah, yatongoza kawefube ono ku Serena Hotel Mu Kampala.
Ekibiina kyetaaga ensimbi ezisoba mu bukadde 200 okweteekateeka.
Mu bimu ku bisuubirwa okuvaamu sente ezo, Uganda Netball Federation eragiridde ekijjulo ekigenda okubeerawo nga 26 omwezi guno ogwa April ku Imperial Royal Hotel mu Kampala okusonderako ensimbi zino.
Empaka za Commonwealth Games zigenda kubeerawo okuva nga 28 July okutuuka nga 8 August 2022.
Uganda egenda esuubirwa okukiikirirwa mu mizannyo egyenjawulo.
She Cranes egenda kuzannya ttiimu ezenjawulo okwetoloola Uganda yonna okutandika nga 16 omwezi ogujja ogwa May okutuuka ku nkomerero yagwo.
Uganda Netball Federation era ekakasizza nti Uganda egenda kutegeka emizannyo gya East Africa Club Championships ezigenda okuberawo okuva nga 8 okutuuka nga 15 May,2022 e Kamwokya Community Sports Ground.
Waliwo n’okutegeka ttiimu egenda okuvuganya mu mpaka za World Cup qualifiers ezókubeera e South Africa’ okuva nga 22 okutuuka nga 27 August 2022.