President wékibiina ekya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu agumizza bannakibiina abesimbawo mu kalulu akaggwa 2021 nebatayitamu, nti batandike okwetegekera akalulu akajja 2026.
Kyagulanyi asinzidde mu lusirika lwa banakibiina e Jinja abeesimbawo ku bifo ebyenjawulo.
Asiimye bonna abayise mu mbeera ezénjawulo nebataggwamu suubi, omuli abagambibwa nti babbibwako obuwanguzi bwabwe, abasibiddwa mu makomera, abakubiddwa nébikolobero ebirala bingi ebibatuusiddwako.
Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mathias Mpuuga Nsamba, abasabye obutaggwamu maanyi nabategeeza nti ngékibiina kitegese enteekateeka ezénjawulo ezinatera okulangirirwa okwetoloola eggwanga lyonna.
BannaNUP abesimbawo nebatayitamu basabye abakulembeze békibiina okubateerawo enkola ezinaabayamba okubakwasizaako, babafunire ebikozesebwa batandikirewo okukunga n’okwetegekera akalulu akanaddako.
Olusirika luno lumaze ennaku bbiri nga luyinda.