President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni atadde omukono ku tteeka erirungamya amasanyalaze mu ggwanga erya electricity amendment Act 2022.
Etteeka lino parliament yalikolamu ennongosereza omwezi gwa April omwaka guno 2022 nga lirimu ebinonerezo ebikakali eri ababba ebintu byamasanyalaze
Likwata ababba wire ,generators, n’abatema emiti gya line z’amasanyalaze.
Omuntu anaakwatibwa era kkooti neemusingisa omusango gwokubba ebintu by’amasanyalaze saako okwonoona line zamasanyalaze wakusibwa mu nkomyo emyaka 15 oba okutanzibwa akawumbi ka shs kamu oba okukola ebibonerezo byombi omulundi gumu.
Parliament bweyali eyisa ennongosereza mu tteeka lino ,yagamba nti ebibonerezo bino ebikakali byassibwawo okulwanyisa omuze gwabantu abayonoona n’okubba ebintu by’amasanyalaze
Etteeka lino erikwata ku masanyalaze era ligyewo enkola y’okuwa olukusa kampuni emu yokka okutuusa amasanyalaze ku makolero n’abantu bonna,nga bwegubadde ku kampuni ya Umeme (monopoly).
Amakolero ne kampuni kati zirina eddembe okubunyisa amasanyalaze eri abagetaaga, nga bwebinaalambikibwa minister w’amasanyalaze.