Omweleso gwa Cbs PEWOSA Nsindikanjake ogw’omulundi ogwe 12 gutandise na maanyi mu Lubiri e Mengo.

Amakampuni n’anbantu kinnoomu baataandise dda okuwa abantu ba Kabaka obuweereza obwenjawulo n’okubaguza ebyamaguzi ebyoleseddwa mu bungi ddala.
Waliyo Olusiisira lw’ebyobulamu abantu ba Nnyinimu mwebagenda okujjanjabibwa endwadde ez’enjawulo ku bwereere, ab’ekitongole ekigaba endaga muntu ekya NIRA nakyo gyekiri mu lubiri okuyamba ku bantu b’Omutanda abalina ebizibu n’endagamuntu.
Abalimi nabo tebasuuliddwa muguluka, mulimu ebyuma ebifukirira ebirime ku nsimbi ensaamusaamu.
Okuyingira mu mwoleso osasula shs 5000/= zokka.