Ab’obuyinza e Bugiri bakutte omusajja Nsaiga Richard asangiddwa ne’ddagala Lya government mu makaage.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Busoga East SP Nandaula Diana agambye nti Nsaiga bamusanze ne box z’amakerenda, syrup, cotton wool, empiso, obutimba bw’ensiri nebirala mu makaage e Nawango mu gombolola ye Nankoma.
Afande Nandaula agamba nti omukwate akolanga Lab assistant mu ddwaliro e Bugiri, era nti aludde ng’akolagana n’abasawo mu ddwaliro lye Namayingo ne Busia, nebamusomolera eddagala ly’abadde nga aguza abalina clinics ne drugshops mu Bugiri.
Sentebe wa district eno Mulumba Kasaija avumiridde ekikolwa kino, nagamba nti abenyigira mumuze guno bebavumaganyisa government nti tetuusa mpeereza mu bantu.
Nsaiga kati akuumibwa mu kaduukulu ka police e Bugiri nga bwalindirira okutwalibwa mu kooti abitebye.
Bisakiddwa: Kirabira Fred