• Latest
  • Trending
  • All
Katikkiro Mayiga alambudde abavubi n’abalimi b’emmwanyi e Kasensero mu nkola ya Situla Omutindo – asabye government ya Uganda okukolagana n’eya Tanzania okumalawo ettemu erikolebwa ku bavubira ku nnyanja Nnalubaale

April 30, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

May 15, 2026
Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

May 15, 2026
Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

May 15, 2026
Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

May 14, 2026
Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

May 14, 2026
Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

May 13, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

May 13, 2026
Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

May 13, 2026
President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

May 12, 2026
Yogaayoga Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 13 ng’okuuma Ddamula

Yogaayoga Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 13 ng’okuuma Ddamula

May 12, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Katikkiro Mayiga alambudde abavubi n’abalimi b’emmwanyi e Kasensero mu nkola ya Situla Omutindo – asabye government ya Uganda okukolagana n’eya Tanzania okumalawo ettemu erikolebwa ku bavubira ku nnyanja Nnalubaale

by Namubiru Juliet
April 30, 2026
in BUGANDA
0 0
0
Katikkiro Mayiga alambudde abavubi n’abalimi b’emmwanyi e Kasensero mu nkola ya Situla Omutindo – asabye government ya Uganda okukolagana n’eya Tanzania okumalawo ettemu erikolebwa ku bavubira ku nnyanja Nnalubaale
0
SHARES
27
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Obwakabaka bwa Buganda busabye government ya Uganda ekolagane ne ginaayo eya Tanzania, okumalawo ekizibu ky’Ettemu erikolebwa ku bannauganda abavubira ku Nnyanja Nalubaale.
Abavubi ku mwalo gwe Kasensero bategeezezza Katikkiro wa Buganda,  nti ettemu erikolebwa ku bavubi ku nnyanja naddala mu bitundu Uganda weyawulira ne Tanzania libatadde ku bunkenke.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abadde alambula abantu ba Kabaka mu Ssaza Buddu, ng’asinziira ku mwalo e Kasensero, kwekusaba  govermment ya Uganda nti wabeewo okunoonyereza okwa mangu ku mbeera y’obubbi n’ettemu erikolebwa ku Banna Uganda abavubira ku Nnyanja Nnalubaale.
Katikkiro era asabye abavubi okwewala Mukenenya nga beewala okunywa omwenge ogw’eggyenjeero, naabawa amagezi nti amasanyu ag’eddakiika entono ezitaliiko kwekuuma galeme kubakwasa Siriimu, waakiri bakozese ebimutangira.
Akola nga Ssentebe w’Omwalo gwe Kasensero, Omulangira Joseph Ssuuna Kateregga agambye nti Okuttibwa kw’abavubi ba Uganda n’okubbibwa kw’amaato ne Engine zaago kuzzizza nnyo abantu ba Kabaka emabega.
Buli mwaka Engine z’amaato 100 n’Omusobyo zibbibwa nga kigambibwa nti zisibira mu Tanzania.
Omulangira Joseph Ssuuna Kateregga, yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olwokukwatira abaana babwe, nga babawa basale z’okusoma.
Okubunyisa enkola ya Situla Omutindo
Mu kulambula kwa Katikkiro, asisinkanye abalimi, abali mu bibiina by’obwegassi, abasuubuzi n’abantu ba Kabaka abakola emirimu egy’enjawulo, naabakubiriza okusitula omutindo mu buli kyebakola.

Katikkiro alambudde Hajj Yasin Sserwadda omulimi w’emmwanyi eziweza yiika 15 e Kasensero.

Amwebazizza okulima emmwanyi nga agoberera enteekateeka ya Situla Omutindo, era esikiriza abalala okujjumbira okulima emmwanyi.

Abagambye nti balina okutandika n’okusitula omutindo gw’obulamu bwabwe nga bekuuma endwadde ezeewalika.
Minister w’eby’Obulamu, Ebyenjigiriza ne wofiisi ya Nnaabagereka Owek. Chotilda Nakate Kikomeko ajjukizza abavubi okwewala okukwatibwa siriimu olw’obulagajjavu.
Omwami wa Kabaka amukulembererako essaza Buddu Pookino Jude Muleke,asinzidde mu Nsisinkano ne Banna CBS pewosa aba Kigasa Akirimu Group CBS PEWOSA ku Mbuga y’Egombolola ya Mutuba IV Kyebe Kannabulemu, nayeebaza Ssaabasajja olw’Okwolesebwa nabbulula Obwegassi.
Mungeri eyenjawulo Owek. Bbaale Mugera agambye nti okuvuganya okuli mu banna PEWOSA mu Buddu,kwongedde enkulaakulana,nga Abantu b’Omuteregga beewola nebasiga ensimbi ate nebasasula.
Katikkiro mu lugendo lwe luno awerekeddwako minister w’Olukiiko, cabinet n’ensonga ez’enkizo mu wofiisi ya Kamalabyonna Owek Noah Kiyimba, Minister w’Amawulire,Okukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke, ssentebe wa Boodi ya Bucadef Omuk Dr Ben Ssekamatte, ssenkulu wa Bucadef Omuk Alfred Batuusa nabalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis
ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we
  • Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala
  • Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo
  • Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco
  • Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist