
Omukulembeze weggwanga Yoweri Tibuhaburwa Kaguta Museveni era ssentebbe wekibiina kya NRM asunsuddwa akakiiko kebyokulonda okuddamu okuvuganya ku ntebbe yobukulembeze bweggwanga lino ekisanja ekyomukaaga, naalabula bagambye nti bateekateeka okutabangula emirembe nga bakolagana nabebweeru nti agenda kubakolako.
Mwaami Museveni asembeddwa akulira abavubuka mu kibiina kya NRM Gadaff Nasuru nabalala era e Kyambogo atuuseeyo ku saawa sattu nekitundu awamu nemukyala we Jannet Kataha Museveni, wakati mu luseregende lwemmotoka nebyokwerinda byonna.
Abamuwerekedde abalala kubaddeko ssaabawandiisi wekibiina kya NRM Justine Kasule Lumumba, ssaabaminisita weggwanga Dr Livingstone Ruhakana Rugunda nabalala okuva mu NRM ne gavument.
Akakiiko kebyokulonda kasoose kwekeneenya ebiwandiiko bya Mwaami Museveni okuli ebyobuyigirize okubyeetegereza oba bituukagana neebyo ebyogerwaako mu mateeka agafuga okulondebwa kwomukulembeze weggwanga.
Ebiwandiiko ebirala ebyetegerezeddwa kubadde neebyo ebiraga nti omuntu ayagala okweesimbawo mulonzi era nga mu alijeesita yeggwanga mwaali, munnansi nebiwandiiko ebirala, era bwaatyo ssentebbe wakakiiko kebyokulonda omulamuzi simon Byabakama Mugenyi naamulangirira nti obukwakulizo bwonna abutuukiriza era naamulangirira nti asunsuddwa.
Omulamuzi Byabakama era aliko entanda gyasibiridde mwaami Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni okuli okugoberera obukwakulizo bwonna obwasibwaawo okutangira ekirwadde kya Covid19 mu kutambuza enteekateeka ze ezokunoonya akalulu.
Mwaami Museveni mukwogerako eri eggwanga oluvanyuma lwokusunsulibwa agambye nti yakyaali President weggwanga lino, tewali muntu yenna gwagenda kukkiriza okutabangula emirembe gyagambye nti gyegyaamutwaala mu nsiko, naagamba nti waliwo abakolagana namawanga amalala okutabangula Uganda bano tabagenda kubakkiriza era anaagezaako kajja kumujjutuuka.
Museveni agambye nti gavument ye essira egenda kulisa nnyo kukukuuma bannansi okubatangira okukwaatibwa ekirwadde kya Covid19, naalabula bannayuganda abali mu kusaagira mu kulwadde kino nti bakikomye kubanga bannansi bangi abasoba mu 100 mu Uganda bafudde ekirwadde kino.
Mwaami Museveni ategeezeza eggwanga nti olweggulo lwaleero ku woteeri ya speke resort e Munyonyo wakwanjula manifesto yekibiina eyekisanja ekiggya 2021/2026 bwaatyo naasaba bannansi bamulindirire bamanye ebiri mu manifesto eno.
Wabula yadde akakiiko kebyokulonda nebitongole byebyokwerinda byaaweze abawagizi babesimbyeewo okugenda ku nguudo ezidda e Kyambogo okuwubira ku bantu byaabwe, mwaami Yoweri Tibuhaburwa Museveni bwabadde egenda ssi bwekibadde, abawagizi ba NRM bangi babadde ku makubo nga bamuwubirako, nga nokubiibya babyiibya kugaliba enjole nga nembuutu bwezivuga.