Olwaleero ensi yonna lw’ekuzizza olunaku olw’okwefumitiriza ku kirwadde kya Puleesa, olw’okukwatibwa buli mwaka nga 17 May, ngénsi yonna ewaayo akadde okwefumintiriza ku bizibu ebireeteddwa ekirwadde ekyo ate nókubisalira amagezi.
Obwakabaka bwa Buganda bwegasse ku nsi yonna okukuza olunaku luno, nóbubaka eri abantu bonna okufissangawo akadde beekebeze bamanye bwe bayimiridde ku kirwadde kino.
Ekirwadde kya Puleesa kitera kuva ku ndyambi, okweraliikirira n’okukabirirwa, ettuulawamu nebirala.
Ekitongole kyebyobulamu munsi yonna ki World Health Organisation nga kiri ne Center for Disease Control mu 2016, baatuula ne bakkaanya ku nteekateeka ezitali zimu, ezirina okugobererwa ensi yonna, okulwanyisa ekirwadde ekyo n’okukendeeza ku muwendo gw’abakwatibwa okutuuka ku bintu 20%.
Mu kawefube ono mulimu okusomesa abantu ku Pressure, okuzuula saako okuwa obujjanjabi obusookerwaako eri abalwadde.
Mu Uganda ekirwadde kino kifunze ekyonga nga kaakano kiri ku bituntu 27% ng’okusinga kisumbuwa nnyo abantu abakuze mu myaka, era kiyiikiriza nnyo abafunyeemu ku nsimbi nebalekerawo okukakaalukana.
Minister weby’obyulamu, eby’enjigiriza era avunanyizibwa ku yafeesi ya Nabagereka Owekitibwa Cotilida Nakate Kikomeko alabude abantu obutagayaalirira kirwadde kya Pressure, bafeeyo okukola ebibatangira okukwatibwa nnawookeera ono omuli n’okukola Dduyiro
Mungeeri yeemu Owek Nakate ategezeezza nti obwakabaka bwakwongera okusomesa abantu ku ndwadde zonna, abantu ba Ssemunywa bayige okuzeetangira.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius