Government ya Uganda ng’eri wamu ne bannamikago etongozza ennambika empya egenda okugobererwa okuyambako abaana abawala mu nnaku zabwe ez’akasanvu, naddala nga bali ku masomero.
Minisiter w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo Janet Kataha Museveni mu bubaka bwatisse minister omubeezi ow’ebyemizannyo Hon Peter Ogwang agambye nti ennambika efulumiziddwa yakuyamba okwangangamu okusoomoozebwa abaana abawala kwebabadde basanga, mu biseera by’ennaku zaabwe kibayambe okusigala nga basoma bulungi.
Ku mukolo gw’okwefumiitiriza ku lunaku lw’obuyonjo bw’abaana abawala nga bali mu nnaku zaabwe olw’ensi yonna, ogubadde e Kololo government ekolaganye n’ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku bungi bw’abantu (UNFPA) batongozza ennambika zino ezimanyiddwa nga Menstrual Health Guidelines nga zino zaakusinga kuyamba bayizi ku masomero.
Mulimu okukakasa nti amasomero n’amatendekero galina ebifo ebituufu abayizi mwebayinza okwetereereza, okufuna ebisabika mu bwangu webabyetaagidde ate nga byamutindo n’okusomesebwa ku by’ennaku zaabwe.
Omukungu wa UNFPA Gift Malunga agambye nti baakuvujjirira enteekateeka eno okukakasa nti abaana ba Uganda abawala tebaddamu kusoomoozebwa mu nnaku zaabwe ekivaako n’abamu okufiirwa emisomo gyabwe nekikotoggera ebiseera byabwe eby’omumaaso.
Batongozza nekyebayise Menstrual Kit nga mulimu Bucket, pads, ssabbuuni, obwangwe, obuwero, n’ebirala ebikozesebwa mu kweyonja n’okwerongoosa kw’omwana omuwala ali mu nnaku ze.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achilleo K