Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde mu mivuyo egyetobese mu bitongole bya government ,byagambye nti bikola ebintu mu ngeri etafa ku bannansi.
Anokooddeyo ministry yébyensimbi nÓkuteekerateekera eggwanga, ne ministry yébyobusuubuzi, olw’okuwuddiisa bannansi ku kirime ky’emmwanyi nga bagenderera okufiiriza bannansi,obuyinza bwonna nebabulekera kampuni engwiira yeba esalawo ku mmwanyi za bannauganda.
Katikkiro abadde mu Lutikko e Lubaga mu kukuza olunaku lwámazuukira ga Yezu Kristu.
Agambye nti waliwo enkola engenderere eyÓkulemesa abantu ba Ssabasajja okubaako nénsimbi mu nsawo nga ziva mu kirime kyémwaanyi, ng’abagwiira baweebwa ebbeetu erizisuubula wa tebaliiko avuganya.
Katikkiro asabye abalimi bémwaanyi mu ggwanga lyonna obutassa mukono bazisimbe ate bazinywe nga bweguli ku matooke, gagambye nti nago gandissibwako obukwakkulizo abantu abeeyagaliza.
Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere yakulembeddemu ekitambiro lya missa y’amazuukira ku lutikko e Lubaga, neyennyamira ku ngeri bannansi gyebakugirwamu okwoogera ku bintu ebibakosa,byagambye nti tebitwalibwa nga nsonga.
Ssaabasumba awakanyizza abo bonna abalemesa bannansi okwogera ku butwa obulowoozebwa okuweebwa abantu nga bubawebwa Bantu banaabwe, kyagambye nti ssi kikolwa kya bwakatonda.
Ssabasumba Ssemogerere agambye nti embeera eno etaddewo obunkenke era naye kimweraliikiriza, nategeeza nti tagenda kusirika nga abantu bakatonda bakuumibwa mu kutiisibwatiisibwa, era naasaba abakola ebivve bino babikomye.
Mungeri yeemu Ssabasumba atenderezza omugenzi Jacob L’Okori Oulanyah olwokulwanyisa enguzi mu ggwanga, bweyavaayo nategeeza nti enguzi etawaanya eggwanga teri mu bantu babulijjo, naakakasa nti efumbekedde mu bbo nga abaweereza mu wofiisi ennene era ez’obuyinza.
Gyebuvuddeko police eriko abantu mukaaga beyayita okukola sitatimenti,ku bigambibwa nti balina byebaayogera ku nfa yeyali sipiika wa parliament Javob Oulanyah.
Mu baayitibwa mulimu ne kitaawe w’omugenzi nga ye Nathan Lokori,eyayogera mu lwatu ku mikolo gy’okuziika, nti mutabani we yamubuulirako nti yali yawebwa obutwa.
Wabula alipoota eyasomebwa government yalaga nti omugenzi yafa bulwadde bwa kkokoolo.