Kkooti ejulirwamu erangiridde olwa nga 24th June,2022 okutandika okuwulira okujulira kw’ababaka ba parliament Ssegirinya Mohammed ne Allan Sewanyana, mwebawakanyiza ekyokugaanibwa okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti.
Ababaka bano nga bayita mu bannamateeka babwe abakulemberwamu Erias Lukwago batwala okujulira kwabwe mu kkooti eno, nga bawakanya ekya kkooti enkulu e Masaka obutabawa mukisa gwakweyimirirwa.
Omulamuzi yategeeza nti singa bayimbulwa bakutataganya okunoonyereza mu misango egibavunaanibwa egy’ettemu, nga bakozesa ebijambiya mu district ye Masaka ne Lwengo.
Bannamateeka b’ababaka bano bagamba nti ekyokugaana okweyimirirwa ate nga balwadde betaaga obujjanjabi, saako nekyokubasigaza mu nkomyo okumala ennaku 180 nga tebawozeseddwa kuba kumenya semateeka.
Ababaka bano kati bagenda kuweza emyezi mwenda nga bali mu nkomyo, era nga gyebuvuddeko Kkooti ento e Masaka yabasindika mu kkooti enkulu okutandika okuvunaanibwa nga negyebuli eno tebawozesebwanga
Obumu ku bujulizi obwasindikibwa mu kkooti enkulu bulumiriza ababaka okugulirira Omunyarwanda Wilson Sennyonga, naye eyagattibwa ku misango egibavunanibwa, okutemula omutuuze Joseph Bwanika mu District y’e Lwengo.
Okusinziira ku ludda oluwaabi ababaka baasisinkana Sennyonga mu kifo ekisanyukirwamu mu Ndeeba, nebamuwa ensimbi okutemula Bwanika, nti era balina n’obutambi obwoleka ensisinkano yabwe.