Omumyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda era Omuwanika w`Obwakabaka past District Governor Owek Robert Waggwa Nsibirwa atongozezza bulungi bwansi ow`okugogola ennyanja ya Kabaka.
Ennyanja ya Kabaka esangibwa mu Ndeeba mu Kampala.
Yazimbibwa mu 1886, ku biragiro bya Kabaka Mwanga II.
Ennyanja ya Kabaka ewezaako obugazi bwa 173m mu bukiika kkono bwayo (north) , ate obukiika ddyo ewezaako obuwanvu bwa 291m.
Ennyanya ya Kabaka mu Ndeeba y’ennyanja esinga obunene mu Africa nga yasimibwa bantu.
Kabaka Mwanga yali ayagala ennyanja eno emusobozese okusaabala amangu okuva mu lubiri e Mengo okutuuka ku nnyanja Nnalubaale.
Omulimu guno tegwasobola kutuukirizibwa olw’entalo z’eddiini ezaabalukawo mu Buganda, Kabaka Mwanga naawangangukira mu bizinga bye Bulingugwe.
Okusinziira ku kitongole kya Buganda eky’obulambuzi ki Buganda Heritage and Tourism Board, Ennyanja eno eriko ebika by’ebinyonyi ebisoba mu 70, ebisikiriza abalambuzi okuba ebule n’ebweya, nga n’ebimu miziro gy’abaganda.#