Obwakabaka bwa Buganda busabye bannabitone ku mitendera egyenjawulo okubitwala ng’emirimu ,babiwe Obudde obumala olwo babifunemu.
Bwabadde yeetabye ku mukolo ogwÓkutikkira Engule bannabyamizannyo abaakoola obulungi mu mwaaka 2024 mu Butikkiro e Mengo, Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Obwakabaka okuva edda nedda nga bumanyifu olwÉmizannyo egyenjawulo, naasaba Ennono eno esigalewo.
Katikkiro atenderezza bannabyamizannyo olwa kaweefube akoleddwa okukunga abantu ba Buganda okwenyigira mu buli kintu kya Nkulaakulana, omuli okulwanyisa Mukenenya, Obulwadde bwa Nnalubiri, Omusujja gwÉnsiri n’endwadde endala, nga abantu ba Kabaka beetaba mu mizannyo omuli Okudduka, Okusamba nÓkubaka Omupiira.
Mungeri eyenjawulo Katikkiro ategeezezza nti ebyemizannyo biyambako mu kujjanjaba Endwadde ezenjawulo mu bantu, nÓkulwanyisa Okukabirirwa.
Minister wÁbavubuka Ebyemisannyo nÉbitone Owek Robert Sserwanga Ssalongo yeebazizza buli aliko kyeyakola okulaba ng’ Empaka z’emizannyo egy’enjawulo 2024 zibeera za mutindo.
Ku mukolo guno abamu ku bannabyamizannyo abasiimiddwa ye Captain wa ttiimu yÉssaza Buddu Pius Ssebulime aweereddwa Engule yÓmuzannyi eyasinze okucanga Akapiira omwaka 2024.
Racheal Nanyonga Captain wÉkika kyÉnnyonyi Enyange yeyasinga Okubaka, abalala ye Nakato Kevin ne Ssebuufu Abuddallah Birangirangi,
Azizi Ssempijja yeyasinga okuvuga Eggaali nga ava mu ssaza Bulemeezi.
Kawuki Quraish owe Mawogola ye muzannyi Omuto eyasinga mu kuzannya Omweso.
Jamil Kizito owe Buwekuula ye muzannyi Omuto eyasinga mu Kigwo.
Dr Ssebaale Kato yeyasinga mu Kuzannya Golf.
Mu Mpaka zÁmasomero zakulemberwamu essomero lya Wampeewo Ntake ne St Julian High School naabalala.
Abaami b’amasaza nabo baweereddwa ebirabo ebibasiima, olw’okukunga abanatu babwe okujjumnira empaka ez’enjawulo.
Bisakiddwa: Kato Denis