• Latest
  • Trending
  • All
Okulonda anaakulira oludda oluvuganya government mu parliament eye 12 – ababaka 4 bebatunuuliddwa

Okulonda anaakulira oludda oluvuganya government mu parliament eye 12 – ababaka 4 bebatunuuliddwa

May 21, 2026
Alipoota y’eddembe ly’obuntu mu Uganda eya 2025 efulumiziddwa – ebikolwa eby’okutulugunya abantu byali bingi mu kwetegekera akalulu ka 2026, ne bannauganda  abasiinga obungi tebafuna buweereza busaanidde mu by’obulamu

Alipoota y’eddembe ly’obuntu mu Uganda eya 2025 efulumiziddwa – ebikolwa eby’okutulugunya abantu byali bingi mu kwetegekera akalulu ka 2026, ne bannauganda abasiinga obungi tebafuna buweereza busaanidde mu by’obulamu

May 20, 2026
Uganda etandise okukola eddagala eriweweeza obulwadde bwa Nalubiri oba Sicklecell – liyitibwa Sikurea Hydroxyrea 500mg

Uganda etandise okukola eddagala eriweweeza obulwadde bwa Nalubiri oba Sicklecell – liyitibwa Sikurea Hydroxyrea 500mg

May 20, 2026
Ab’ebyokwerinda baboye emmotoka endala 3 ez’abadde sipiika wa Parliament Annet Anitah Among okuva mu maka ge e Nakasero

Ab’ebyokwerinda baboye emmotoka endala 3 ez’abadde sipiika wa Parliament Annet Anitah Among okuva mu maka ge e Nakasero

May 20, 2026

Abalamazi aba Congo abasoba mu 70 abaabadde batuuse mu Uganda okwetaba ku bikujjuko by’abajulizi basiibuddwa okuddayo mu DRC olw’ekirwadde kya Ebola – ne Centenary ewaddeyo obukadde bwa shs 138 zeyali yasuubiza ku nteekateeka z’olunaku lw’abajulizi

May 19, 2026

Omuyimbi Karole Kasiita akiise embuga naayanjulayo ekivvulu kye – kigenda kubaawo nga 29 May,2026 ku Serena

May 19, 2026

Muteesa I Royal University eyanjulidde Obwakabaka ekikopo ky’omupiira kyebaawangudde akya Uganda Universities League 2026

May 19, 2026

Amus College School liwangudde empaka za National Boys Football Championship 2026 – ewangudde Bukedea South SS

May 19, 2026

Vipers FC ewangudde ekikopo kya Uganda Primier League eky’omulundi ogwo 8

May 19, 2026

Buweekula ne Kyaggwe bebaggulawo empaka z’amasaza ga Buganda eza 2026 – nga 13 June ku Mubende NTC

May 19, 2026

Ababaka ba parliament abava mu Buganda balonze Robert Migadde okubeera ssentebe wabwe

May 19, 2026

NUP erangiridde Paul Mwiru okuvuganya ku kifo kya sipiika wa parliament eye 12

May 19, 2026
America etadde envumbo ku bantu abava mu Uganda ne DRC olw’ekirwadde kya Ebola – ewaddeyo n’obukadde bwa dollar 13 eri amawanga gano okugadduukirira

America etadde envumbo ku bantu abava mu Uganda ne DRC olw’ekirwadde kya Ebola – ewaddeyo n’obukadde bwa dollar 13 eri amawanga gano okugadduukirira

May 19, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Nature

Okulonda anaakulira oludda oluvuganya government mu parliament eye 12 – ababaka 4 bebatunuuliddwa

by Namubiru Juliet
May 21, 2026
in Nature
0 0
0
Okulonda anaakulira oludda oluvuganya government mu parliament eye 12 – ababaka 4 bebatunuuliddwa
0
SHARES
17
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Ababaka ba parliament 4 bebakyekenneenyezebwa, okulondebwako anakulembera oludda oluvuganya government mu parliament eye 12 (Leader of Opposition).
Ensonda zibuulidde CBS nti amannya  agakyetegerezebwa era agoogerwako nti kwekugenda okuva omu , kuliko Joel Ssenyonyi omubaka wa Nakawa Division West nga yabadde akulira oludda oluvuganya government mu parliament eye 11.
Abalala ye John Baptist Nambeshe omubaka wa Manjiya nga yabadde Nampala w’oludda oluvuganya government mu parliament okumala emyaka 5.
Paul Mwiiru omubaka wa Jinja South East eyasala eddiiru okuva mu ANT neyegatta ku NUP.
Omulala ye Patrick Nsamba Oshabe omubaka wa Kassanda North naye kitegerekese nti ekifo kino akyeyagaliza.
Kigambibwa nti John Baptist Nambeshe nga ye mumyuuka wa President wa NUP atwala obuvanjuba bw’eggwanga,  emyaka 5 egiyise azze asuubizibwa abakulu mu kibiina ki NUP nti bwekataligirya ajja kuweebwa ekifo kyakulira oludda oluvuganya government wabula kino tekinatuukirira.
Wabula ensonda mu NUP zibuulidde CBS  nti omubaka wa Nakawa Division west Joel Ssenyonyi ayolekedde okuzzibwa mu kifo kino ekyakulira oludda oluvuganya government,  olwo ye Nambeshe John Baptist aweebwe ekifo kyobwa Commissioner wa parliament.
Ensonda era zigamba nti omubaka Paul mwiiru ne Patrick Nsamba Oshabe kwekwolekedde okuva omu anaalondebwa nga nampala woludda oluvuganya government mu parliament eye 12, ate omulala akulire akakiiko akalondoola ensaasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo aka PAC oba Cosase
Mu kiseera kino, NUP era yaseembye Paul mwiiru okukwatira ekibiina kino bendera mu kuvuganya ku kifo kyobwa sipiika,oba oli awo gyatalina lugendo lunene nnyo olwa NRM okuba nti yeesinza ababaka abangi abasalawo ensonga mu parliament.
Ababaka okuli George Musisi owa munisipaali ye Kira atunuuliddwa okulondebwa okukulembera akakiiko ka Cosase songa ababaka okuli Betty Nambooze Bakireke, Francis Zaake Butebi nabalala ensonda zibuulidde CBS nti boolekedde okusindiikibwa mu parliament zebweru okuli eya Pan African parliament, Common wealth parliament nendala nti bakiikirire oludda oluvuganya government ya Uganda oluuyi olwo.
Ensonda zibuulidde CBS nti omubaka wa Nyendo mukungwe Lubowa Ssebina Javiira nomubaka wa munisipaali ye Ntungamo Gerald Karuhanga owa ANT saako omubaka omukyala owa district ye Wakiso, nabo  batunuuliddwa okuggonomolwako obukulu mu bukiiko obukulemberwa oludda oluvuganya government.
Omubaka wa munisipaali ye Iganga munnamateeka Mudiobole Abed Nasser naye atunuuliddwa okuggonomolwako ekifo ekinene nga singa tewabeerawo kikyuuse yandirondebwa ku kifo Kya Ssaabawolereza w’oludda oluvuganya government.
Ababaka ba PFF ababiri okuli Betty AOl Ochan omubaka omukyala owekibuga Gulu ne Asinansi Nyakato omubaka omukyala owekibuga Hoima kigambibwa nti nabo bagenda kuweebwa ebifo ku bukulembeze bw’oludda oluvuganya government mu parliament.
Kisuubirwa nti mu bbanga lya wiiki 2 okuva kati obukulembeze bw’oludda oluvuganya government mu parliament bwakuba nga busaliddwawo.
Ebyenkomeredde ku bukulembeze bw’oludda oluvuganya government mu parliament eye 12 ,birina kusalibwawo omukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ali mu ggwanga lya America.#
ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Okulonda anaakulira oludda oluvuganya government mu parliament eye 12 – ababaka 4 bebatunuuliddwa
  • Alipoota y’eddembe ly’obuntu mu Uganda eya 2025 efulumiziddwa – ebikolwa eby’okutulugunya abantu byali bingi mu kwetegekera akalulu ka 2026, ne bannauganda abasiinga obungi tebafuna buweereza busaanidde mu by’obulamu
  • Uganda etandise okukola eddagala eriweweeza obulwadde bwa Nalubiri oba Sicklecell – liyitibwa Sikurea Hydroxyrea 500mg
  • Ab’ebyokwerinda baboye emmotoka endala 3 ez’abadde sipiika wa Parliament Annet Anitah Among okuva mu maka ge e Nakasero
  • Abalamazi aba Congo abasoba mu 70 abaabadde batuuse mu Uganda okwetaba ku bikujjuko by’abajulizi basiibuddwa okuddayo mu DRC olw’ekirwadde kya Ebola – ne Centenary ewaddeyo obukadde bwa shs 138 zeyali yasuubiza ku nteekateeka z’olunaku lw’abajulizi

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist