Abakulembeze mu district ye Mityana basattira olw’okubalukawo kw’ekirwadde Mulangira oba Olukusense ekizinzeeko abaana mu ggombolola 2.
Ekirwadde kino kitegerekese nti kyabaluseewo mu bitundu bye ggombolola ye Mmaanyi ne mu division ye Ttamu nga kisinze okukosa naddala abaana bato.
Embeera eno, kitegerekese nti kivudde ku masomero agamu okutangira abeebyobulamu okugenda mu maaso okugemesa abaana buli government lwerangirira enteekateeka ey’okugema, naabazadde abamu okukweka abaana mu kiseera ekyo nga kirangiriddwa.
Nampijja Justin, avunanyizibwa ku byebibalo mu district ye Mityana, agambye nti wadde okugemesa abaana ewamu kubadde kujjumbiddwa mu ggombolola ezimu nebyalo okuli Banda, Kabuwambo, Kiyiganyi, Nseebe ne Nakaziba.
Bwabadde mu musomo gwebyobulamu ku district e Mityana abakwatiddwa ensonga mwebasisinkanidde okusala amagezi ku kizibu ekiriwo, avunanyizibwa ku byokusomesa ku ndwadde, Nakimbugwe Winfred, agambye nti abamasomero agamu balemesa abasawo okugema abaana, boolekedde okutwalibwa mu mbuga z’amateeka.
Ministry y’ebyobulamu n’Ekitongole ekitakabanira okulwanyisa endwadde ekya Amref Uganda, baatongoza kawefube eyatuumibwa Save Lives and Livelihoods mu district ez’enjawulo, okukwasizaako okugema endwadde ng’omusujja gwensiri, kookolo w’omumwa gwa nabaana, nendwadde endala ezisookerwako.
Okusomesa abantu nebirala mu kawefube ono wakutambuzibwa okutuusa ku nkomerero y’omwaka guno 2025.
Amyuuka ssentebe wa district ye Mityana, Nassali Ann Miriam Lugendo, mukwogerako ne Cbs, agambye nti batandise okunonyereza ekituufu ekiviirako endwadde ezigemebwa ate okuddamu okubalukawo mu kitundu.
Abamu ku basawo abayambako mu byobujjanjabi by’okubyalo nga bakulembeddwamu, Kawuma Godfrey, balumiriza nti obuzibu buva ku ddagala ettono eribaweebwa mu kugema.
Bisakiddwa: Ddungu Davis