President wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine awanjagidde government ekome ku bakuuma ddembe abatwalibwa ku Nnyanja okujigogola ,baleke abantu beyagalire ku Nnyanja baleme kujibatamya.
Kyagulanyi Ssentamu asinzidde mu bizinga bye Buvuma bwabadde agenze okuggulawo ofiisi z’ekibiina kya NUP.
Kyagulanyi okwogera bino kivudde ku bavubi okumutegeeza nti abamu ennyanja baajivaako olw’okutulugunyizibwa nga kati bakeera kukuba misota mu bizinga.

Kyagulanyi agambye nti ebimu kubyongedde ebbula ly’emirimu mu ggwanga kwekubanga abantu emirimu gyebaali bakola baajibagobamu kati basiiba bataayaaya.
Ssaabawandiisi w’ekibiina kya NUP David Lewis Rubongoya asabye abavubuka okukozesa amaanyi gabwe n’omulembe gwabwe, okwesimbawo ku bifo by’obukulembeze babeere ekyokulabirako eri omujiji ogujja.
Suzan Mugabi Nakaziba omubaka omukyala owa Buvuma ategezezza nti y’omu kubabaka abatagenda kuva ku nnono n’obuwangwa bwa Buganda nti era bagenda kwongera okusitula essaza lyabwe nga bawagira emipiira gy’amasaza ga Buganda.