
Ekittavu ky’ensimbi z’abakozi mu Uganda ki National Social Security Fund (NSSF), kyakafulumya obuwumbi bwa shs 78 n’obukadde 800 (shs78.8b), ku nteekateeka y’okusasula abakozi ekitundu ku sente zabwe zebaaterekayo.
Abakozi abasoba mu mitwalo ena bebassaayo okusaba okuwebwa ekitundu ku sente zabwe, nga besigama ku tteeka eppya eriruƞamya enzirukanya y’emirimu gya NSSF.
Abakozi abasusizza emyaka 45 baweereddwa ebitundu 20% ku ssente zebalinayo, n’ebitundu 50% eri abaliko obulemu.
Ssenkulu wa NSSF Richard Byarugaba agambye nti abantu omutwalo 14,690 bebaakassaayo okusaba kwabwe, era bonna wamu bakuwebwa obuwumbi obusoba mu 350.
Abantu bano ebitundu 30% bokka bebaakafuna ku ssente.
Byarugaba agamba nti NSSF yali yakugaba ensimbi obuwumbi 50 buli wiiki, wabula mu wiiki esoose wakati wa 7 – 22 march 2022, baagabye obuwumbi 78 n’obukadde 800 (shs 78.8b).
Byarugaba agamba nti omuntu eyakafuna ensimbi ennyingi eziweza ebitundu 20 %, yakafuna obukadde 500, wabula ng’abasigadde ebitundu 80% tebaweza bukadde kkumi (shs 10m).
Abantu 5,990 bebaataddeyo okusaba kwabwe nga bayita ku mutimbagano, ate abalala 8,697 baagenze butereevu ku wofiisi za NSSF.