Nnaabagereka Sylvia Nagginda awangudde engule eyémirembe gyonna eyómuntu asingidde ddala Ókutumbula Obuntubulamu eyómwaka 2021(lifetime achievement award), mu mawanga aga East Africa.
Engule eno emuweereddwa ekitongole ki East Africa Philanthropy Network, ekirondoola emirimu egikolebwa okujuna n’okukyusa obulamu bw’abantu abalala.
Okunoonyereza okwakoleddwa mu mawanga gÓmukago gw’Obuvanjuba bwa Africa, kwalaze nti Nnaabagereka abadde nénkola ensukkulumu ezituusa obuweereza ObwÓbuntu mu bantu, nga ayita mu Kisaakaate kya Nnaabagereka n’emirimu emirala egikolebwa ekitongole ki Nnaabagereka Development Foundation.
Engule eno Nnaabagereka Sylvia Nagginda emuweereddwa ku SKYZ Hotel e Naggulu, ng’akiikiriddwa minister wa Cabinet n’olukiiko era omwogezi wÓbwakabaka bwa Buganda Owek. Noah Kiyimba.
Mu bubaka bwe asabye abantu mu Uganda yonna okubeera nÓmutima omugabi, okumalawo ebikolwa ebyokwekkusa ebisukkiridde mu bantu nókweyagaliza okususse.
Owek Noah Kiyimba asabye bannansi okwefumiitiriza ku buwanguzi Nnaabagereka bwatuseeko bakole ebintu ebirimu ensa, ng’essira balissa ku kulwanyisa enguzi, okubba ensimbi zómuwi wómusolo nébirala.
Ssenkulu wékitongole ki East Africa Philanthropy Network Evans Okinyi atenderezza Nnaabagereka olw’obuweereza obussukkulu era obulumirirwa abantu abalala,naddala emiti emito.
Agambye nti baakoze okunoonyereza okwenjawulo mu kasirise awatali kutemya ku muntu yonna okwetoloola amawanga ga East Africa, Nnaabagereka násuukkuluma.